Tony Mawejje abadde muzannyi wa njawulo - Micho

Sep 13, 2022

“Mawejje y’omu ku bazannyi ab’enjawulo ate omwangu ow’okukola naye. Twagala nnyo okulaba ng’ebiseera ebiddako abavubuka bafuuka abasajja nga Mawejje okuva ng’akyali mu Masaka LC FC.”

NewVision Reporter
@NewVision

OMUTENDESI wa Cranes, Micho Sredojevic atenderezza eyaliko omuwuwuttanyi wa Cranes, Tony Mawejje era n’asaba Bannayuganda bonna okujjumbira omupiira gw’ategesa okumusiibula mu butongole. 

Micho yalangiridedda ttiimu egenda okuttunka ne Mawejje All-Star ejjuddemu abazannyi abaatwala Cranes mu mpaka za AFCON mu 2017 ezaali e Gabon nga era y’omu ku bazannyi abaalimu. 

“Mawejje y’omu ku bazannyi ab’enjawulo ate omwangu ow’okukola naye. Twagala nnyo okulaba ng’ebiseera ebiddako abavubuka bafuuka abasajja nga Mawejje okuva ng’akyali mu Masaka LC FC.” Micho bwe yategeezezza. 

Micho, eyatendeka Mawejje okuva 2013-17 era yamwogeddeko nga omukulembeze ow’enjawulo eyasobola okuyamba bamusaayimuto abajjanga ku Cranes ng’omu kw’abo ye Khalid Aucho. 

Micho

Micho

Ttiimu ya Uganda egenda okuttunka n’eya Mawejje.

Baggoolokipa: Giousue Bellagambi (Huddersfield Town FC), Denis Otim (Express FC), Denis Kiggundu (Vipers SC), Shamulan Kamya (Impala Hill), Abdu Magada (Gadaffi FC) 

Abazibizi: Garvin Kizito Mugweri (SC Villa), James Begisa (URA FC), Abdu Azizi Kayondo (Royal Monarchs), Derrick Ndahiro (URA FC), Ibrahim Juma (Leganes FC), Musa Ramathan (Cincinnati FC), Kenneth Ssemakula (SC Villa), Hassan Jurua (KCCA FC), Hillary Mukundane (Vipers SC), Samson Kasozi (UPDF FC), Simon Baligeya (URA FC) 

Abawuwuttanyi: Bobosi Byaruhanga (MFK Vyskov), Steven Sserwadda (New York Red Bulls), Najib Yiga (Vipers SC), AbdulKarim Watambala (Vipers SC), Ivan Irinimbabazi (Soltilo Bright Stars FC), Abdallah Salim (URA FC), Issa Bugembe (Soltilo Bright Stars FC), Faisal Wabyoona (KCCA FC), Saidi Mayanja (KCCA FC), Isma Mugulusi (Unattached), Rogers Mugisha (UPDF FC), Bright Anukani (Vipers SC) 

Abateebi: Hakim Kiwanuka (Proline FC), Travis Mutyaba (SC Villa), Titus Ssematimba (Wakiso Giants FC), Derrick Kakooza (Valmiera), Sadat Anaku (Dundee FC), Rogers Mato (KCCA FC) ne Richard Basangwa (Gaddafi FC) 

 

 

 

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});