Lwamukaaga mu CAF Confederations Cup;
Future FC- BUL FC
Keni, eyali omuzannyi w’olunaku nga bakola amaliri ga 0-0 ne Future FC eya Misiri e Kitende, agamba nti ttiimu eyalondeddwa kabiriiti era buli muzannyi mwetegefu okufiirawo beesogge oluzannya oluddako.
“E Kitende twakola ennumba ez’obulabe wabula omukwasi wa ggoolo ya Future Mahmoud Ahmed yali musaale nnyo kuba yataasa emirundi ebiri nga ffenna tubaze nti ggoolo wabula twagenze e Misiri kuzannya mupiira gwa kulumba okusobola okufuna obuwanguzi,” Keni bwe yabambye.