BUL ne Vipers ziri mu nsiike

Sep 17, 2022

OMUTENDESI wa BUL FC Alex Isabirye Musongola omulaka agutadde ku lugoba luteebi okumufunira ggoolo ezimuyisaawo okugenda ku mutendera oguddako mu z’okusunsulamu ttiimu ezirwana okwesogga ebibinja bya CAF Confederations Cup.

NewVision Reporter
@NewVision

Leero Lwamukaaga badding’anye ne Future FC eya Misiri ku kisaawe kya Cairo International Stadium ng’awangula ajja kusisinkana Borgou eya Benin oba Kollon FC eya Sierra Leon ku mutendera oguddako ate gwe bakuba y’awanduka.

Kibadde kikyali kizibu ky’amaanyi eri ttiimu za Uganda okufuna obuwanguzi nga zikyalidde ez’Amawanga g’obukiika kkono bw’Africa (North Africa), ssinga BUL ekikola kijja kuba kyafaayo.

Ensiike y’ababiri bano eyasooka ku Ssande ewedde ku St. Mary’s Kitende wano mu ggwanga, yaggweera mu maliri (0-0) era wano Isabirye w’agambira nti abateebi okuli Karim Ndugwa, Frank Kalanda n’abalala tebaakola kimala naye omulundi guno abawagadde okumufunira ggoolo ez’omugaso.

“Abazannyi bonna ku kisaawe baakola bulungi mu nsiike eyasooka naye twasubwa emikisa gya goolo mingi, wano wentadde essira, njagala mupiira gwa kulumba buteddiriza okutuusa ku ffirimbi esembayo,” Isabirye bwe yategeezezza.

Bul Fc

Bul Fc

Mu mbeera y’emu Vipers SC ekomyewo mu nsiike mu maka gaayo ku St. Mary’s e Kitende nga nabo badding’ana ne Olympic Real De Bangui eya Central African Republic.

Bali ku laawundi esooka mu z’okusunsulamu ttiimu ezinaazannya mu bibinja bya CAF Champions League. Ensiike eyasooka Vipers SC yagiwangula ggoolo 3-0 oluvannyuma lw’abazannyi ba Bangui okutandika nga ttiimu tewera.

Ggoolo za Vipers zaateebebwa Abdu Lumala, Issa Mubiru ne Nagib Yiga, leero (Lwamukaaga) baagala kunyweza buwanguzi buno beeyongereyo ku laawundi eyookubiri gye basuubira okusisinkana TP. Mazembe eya DR. Congo.

Ttiimu ewanduka ku mutendera guno ekkirira mu z’okusunsulamu eza CAF Confederations Cup.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});