Bawangudde empaka z'okusiba emifumbi
Oct 04, 2022
Muwanga yamezze Abdul Nasser Mwanje (light heavy) eyakutte ekyokubiri, Aksam Kisekka (light) eyamalidde mu kyokusatu, Hassan Ssentongo (welter), Brian Opendo (bantam) ne Arafat Ssekitooleko (heavy).

NewVision Reporter
@NewVision
LAMECK Muwanga kyampiyoni w’empaka z’emifumbi eza ‘Mr Kampala’ eza 2018 asitukidde mu za ‘Mr Central Region Bodybuilding Championships’oluvannyuma lw’okumegga banne 50.
Empaka zino zaabumbujjidde ku ISK Gym mu Ndeeba nga gwe mulundi gwe zisoose okuzannyibwa ku kalenda ya Uganda Bodybuilding and Fitness Association (UBBFA) ekibiina ekitwala omuzannyo gw’emifumbi mu ggwanga.
Mukyala (ku kkono), Muwanga, Najjuma ne Tamale nga basitudde ebikopo byabwe. ng
Muwanga yamezze Abdul Nasser Mwanje (light heavy) eyakutte ekyokubiri, Aksam Kisekka (light) eyamalidde mu kyokusatu, Hassan Ssentongo (welter), Brian Opendo (bantam) ne Arafat Ssekitooleko (heavy).
Mu balala abaawangudde, Shamirah Mukyala awangudde ez’abakazi ku mutendera gwa ‘Ms Physic’ n’addiririrwa Zulaika Najjuma ate Stephen Ssande n’awangula eza ‘Mr Physic’.
Abawanguzi abasatu abakulembedde mu buzito 6 obw’enjawulo baayiseemu okuttunka mu za ‘Mr Uganda’ ez’okubaawo nga December 3 omwaka guno.
Empaka zeetabiddwaako Herbet Rwakandare omukungu mu ofiisi ya Pulezidenti, Twaha Ddungu Pulezidenti wa UBBFA.
No Comment