Manyangwa FC eguze abasambi 14 okwetegekera League
Oct 13, 2022
Manyangwa FC eguze abasambi 14 okwetegekera League.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Samuel Tebuseeke
Manyangwa FC eguze abasambi 14 okwetegekera League.
Manyangwa FC esambira mu League ya FUFA eyookusatu eyitibwa FUFA Buganda Regional League eyogedde okwenyeza wamu n'okwetegekera liigi eno bwasazeeko abazannyi 11 ate n'egula 14.
Joseph Mugisha, Maneja wa ttiimu ye Manyangwa FC yategeezezza nti bagenda kukola buli ekisoboka okulaba nga ttiimu egenda mu FUFA Big League.
Yasabye abantu be Manyangwa ttiimu weeva wamu ne Kasangati Town Council okwogeramu amaanyi mu kuvugirira ttiimu kubanga kati ttiimu egumidde egenda kukuba buli agisala mu maaso.
Liigi etandika ng October,19,2022.
Manyangwa yazannye omupiira ogw'okwegezaamu ne KCCA neguggwa nga KCCA
2-0 Manyangwa.
Abazannyi Manyangwa FC be yaguzze be bano;
1. Brian Mwebe yavudde mu All Saints Church Manyangwa
2. Regan Kagera yavudde mu All Saints Church Manyangwa
3. Henry Amuka yavudde mu Lugo United
4. Ivan Nyombi yavudde mu Kawempe United
5. Derick Kiberu yavudde mu Hope Foundation
6. Arafat Ssentongo yavudde mu Bajjo United
7. Mubarak Masereka yavudde mu Mbale Heroes
8. Denis Kigguddu Yavudde mu Ebenezer FC
9. Kizza Kiwatule yavudde mu Ssaza kyaddondo FC
10. Frank Faizo yavudde mu Luwaluwa FC
11. Abbu Kasozi yavudde mu Kyaddondo Eagles
12. Joseph Kizza yavudde mu Ssaza kyaddondo FC
13. Patrick Oyeet yavudde mu Ssaza Ssesse FC
14. Francis Onzima yavudde mu Ggaba United.
Abazannyi abakade ababadde ku Team ye Manyangwa FC abasigadde kuliko.
Livingstone Kamunvi , Yasin, Kinene , Geoffrey Oketch, Derick Kiberu , Alfat Ssentongo , Patrick Senfuka , Andrew Kasozi ne Ivan Mubiru . Geoffrey Kawooya, Isima Kayondo ,Isaac Juuko , Derick Katogorega.
Abatendensi kuliko; George Best Nsimbe, Muhammad Sseruwagi ne Ibra Lutalo Yawe. Keno Julius CEO wa Manyangwa FC yategeezezza nti bano bonna abazannyi n'abatendesi, endagaano zaabwe zawedde nga kati balinze bulinzi liigi etandike.
No Comment