Ku Lwokubiri (October 11, 2022) Kyambogo yakyalidde MUBS e Nakawa era n’ewangula omupiira (2-1) wabula okusinziira ku bbaluwa okuva ku MUBS, ggoolokippa Andrew Ahebwomugisha si muyizi wa Kyambogo.
MUBS ennyonnyola nti ggoolokippa Andrew Ahebwomugisha mulala nnyo ate eyazannyidde mu linnya lino ye Amir Serugo ggoolopippa nnamba bbiri w’Essaza lya Kyaggwe.
Hillary Godfrey Kimbugwe akulira eby’emizannyo bya MUBS yasabye akakiiko akakwasisa empisa mu liigi eno okutunula mu kiwandiiko kyabwe ekyemulugunya era babawe obubonero babwe.
Mu mupiira guno, Amir Serugo eyeeyita Andrew Ahebwomugisha ggoolokippa wa Kyambogo yaggyeemu penati ya Peter Ssebaggala ne Raymond Witakire aba MUBS, ekyawanguzza Kyambogo ku penati (4-1).
MUBS yali yawangula ensiike eyasooka (2-1) e Kyambogo ate ne Kyambogo n’ewangula (2-1) e Nakawa ekyabawalirizza okugenda mu penati ezaawanguddwa Kyambogo (4-1).
Akalulu ka semi Kyambogo kaagisudde ku St. Lawrence ng’ensiike yaabwe esooka esuubirwa okuzannyibwa ku Lwokubiri lwa wiiki ejja (October 18, 2022) ssinga omusango guno tegubasse mu vvi.