Njagala kuwangula misipi gya muzinzi - Yusuf Babu

Babu, yaggunze Muhumuza eng’uumi ezaamulese ng’aboologera mu miguwa ekyacamudde abawagizi be ne bayimuka ne bamuwa emizira n’obugalo (standing ovation).

Babu (owookubiri ku kkono) nga bamulangiridde ku bwakyampiyoni.
By Fred Kisekka
Journalists @New Vision
#Hudson Muhumuza #Yusuf Babu #MTN Arena #The Bombers #Bingwa wa Mabingwa

OLUVANNYUMA lw’okuwumiza Hudson Muhumuza, omuggunzi w’eng’uumi Yusuf Babu ayongedde okuwera bw’agenda okuggunda buli abamwepimamu.

Abamu ku bawagizi abeetabye ku kikonde kya Babu.

Abamu ku bawagizi abeetabye ku kikonde kya Babu.

Babu, yaggunze Muhumuza eng’uumi ezaamulese ng’aboologera mu miguwa ekyacamudde abawagizi be ne bayimuka ne bamuwa emizira n’obugalo (standing ovation).

Luno lwabadde lulwana lwe olwasoose mu bikonde ebya pulofesono ku MTN Arena e Lugogo.

Omubaka wa Lubaga North, Abubaker Kawalya (wakati) ng'afuuwa Babu ssente.

Omubaka wa Lubaga North, Abubaker Kawalya (wakati) ng'afuuwa Babu ssente.

Battunkidde mu buzito bwa heavy ng’olulwana luno lwetabiddwaako nnamungi w’abawagizi. Yaluwangulidde ku bubonero 58-52, 59-51 ne 57-53.

Babu agamba nti ekiruubirirwa kye kya kuwangula misipi gya muzinzi ku lukalu lwa Afrika ne ku ddaala ly’ensi yonna.

Babu (ku ddyo) ng'awumiza Muhumuza.

Babu (ku ddyo) ng'awumiza Muhumuza.

Babu, yaliko kapiteeni wa ttiimu y’eggwanga ‘The Bombers’ wakati wa 2016 ne 2017 gye yawangulira emidaali gya zaabu ebiri mu mpaka za Bingwa wa Mabingwa kw’ossa okugikiirira mu mpaka za Afrika Boxing Championships eza 2017 e Congo Brazzaville n’endala.