Manyangwa FC eyongedde okwenyweza
Nov 14, 2022
Ttiimu y’omupiira gwe bigere eya Manyangwa FC esambira mu kibinja kya FUFA Buganda Regional League eyogende okwenywereza ku kimeeza.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Samuel Tebuseeke
Ttiimu y’omupiira gwe bigere eya Manyangwa FC esambira mu kibinja kya FUFA Buganda Regional League eyogende okwenywereza ku kimeeza.
Eno ekubye Simba FC goolo (1-0) nga ggoolo yateebeddwa omuzannyi Kizza Kiwatule owa Manyangwa FC, ku mupiira ogwabadde ku kisaawe kya Manyangwa e Gayaza.
Kati Manyangwa erina obubonero 12 nga mu mipiira ena gye yaakasamba tannakubwaamu.
George Best Nsimbe, eyali omutendesi wa KCCA FC nga kati omutendesi wa Manyangwa FC ng' amyukibwa Muhammad Sseruwagi bayogedde okuwaga ne bategeeza nti ekigendererwa kyabwe kutwala ttiimu eno mu Big League. Ku ssande eno Sparks FC egenda kuzannya ne Manyangwa.
No Comment