Baabano bamusaayimuto abasinze omutindo mu bibinja bya World Cup e Qatar
Dec 04, 2022
BULI World Cup w’etuuka oba empaka zonna eziri ku mutedera gw’ensi yonna mu mizannyo egy’enjawulo, abazannyi bakola nga bulogoyi okwetunda eri ttiimu za liigi ez’enjawulo okubakansa mu katale akaddako.

NewVision Reporter
@NewVision
2022 Qatar World Cup
Eggulo
Budaaki 3-1 USA
Argentina 2-1 Australia
Ekiri mu kibuga Doha ekya Qatar, bamusaayimuto be basinze okwolesa omutindo ogutadde ttiimu ezibavuganya ku bunkenke nga w’osomera bino ttiimu za liigi ez’enjawulo okuli; Bungereza, Bufalansa, Spain, Bugirimaani, Yitale, Budaaki n’endala zaatandise dda okunuuka ensingo.
Emipiira gy’ebibinja gyakomekkerezeddwa ku Lwokutaano lwa wiiki eno nga kati tuli ku mutendera ogwa ttiimu 16, tukusunsulidde bamusaayimuto abakyasinze okwaka mu World Cup eno 2022 esuubirwa okukomekkerezebwa December 18, 2022.
Yunus Dimoara Musah
Yunus Dimoara Musah 20, omuwuwuttanyi wa Amerika ne Valencia eya Spain y’omu ku bulogoyi obuzuuliddwa mu World Cup eno. Eyalaba omupiira gwa Amerika ng’ekuba Iran (1-0) toyinza kubuusabuusa linnya lya Musah.
Yalemesa ennumba z’Abayirani ez’obulabe 24, kw’ossa okuvuga omupiira, okuteekawo ppaasi ezituuka ku bateebi n’obuyiiya obungi bw’ateeka ku mupiira ng’agulina, atandise emipiira gyonna 4 Amerika gye yaakazannya mu World Cup eno wadde eggulo baawanduddwaamu Budaaki (3-1) ku mutendera gwa ttiimu 16.
Gapko
Cody Gapko 23 omuteebi wa Budaaki ne Phillips Sport Vereniging Eindhoven (PSV) afuuse ensonga mu World Cup eno. Ateebye mu mipiira gyonna esatu egy’ekibinja Budaaki gy’ezannye era n’abayamba okukulembera ekibinja A n’obubonero 7 nga tekubiddwaamu. Man U yatandise dda okusuuliza enkessi okulaba ng’efuna omuvubuka ono gwe yali yayagala edda.
Mohammed Kudus 22 omuwuttanyi wa Ghana ne AFC Ajax Amsterdam eya Budaaki, abadde mpagi nnyo nga newankubadde Ghana yakutukidde mu maanyi bwe yamalidde mu kifo kyakuana mu kibinja H ku bubonero 3 mu mipiira 3.
Kudus ajjukirwa nnyo ng’ateeba ggoolo bbiri mu mupiira gumu nga Ghana ekuba South Korea (3-2), alabiddwaako ng’azannya awerekera abateebi, kw’ossa okuyita ku wingi zombi eya ddyo ne kkono mu maaso ate nga byonna abikola bulungi.
Aissa Laidouni Owa Tunisia
Aissa Laidouni 25 omuwuwuttanyi wa Tunisia ne Ferencaros Torna Club eya Hungry, ono obwongo abadde alina bungi ku mupiira wakati w’ekisaawe, kituufu Tunisia teyavudde mu kibinja D bwe yakung’aanyizza obubonero 4 mu kifo ekyokusatu, naye Laidouni obwedda ayiiyiiza nnyo ttiimu okufuna wiini ku Bufalansa (1-0).
Enzo Fernandez 1
Enzo Fernandez 21 omuwuwuttanyi wa Argentina ne Sport Lisboa e Benifica eya Portugal, newankubadde ono abadde atera kuva ku katebe naye buli mulundi gw’azze ku kisaawe abadde alaga ennyonta nnyingi, mulungi mu bbanga, yateebye mu ddakiika eye 87 nga Argentina ekuba Mexico (2-0), yeetala ekisaawe kyonna ate n’akomawo okuzibira.
Yayambye Argentina okukulembera ekibinja C n’obubonero 6 mu mipiira 3 ne yeesogga omutendera gwa ttiimu 16.
Josko Gvardiol 1536x1174
Jasko Gvardiol 20 omuzibizi wa Croatia ne Rasen Ball sport Leipzig emanyiddwa nga RB Leipzig eya Bugirimaani, y’abadde musaale nnyo mu kisenge kya Croatia ng’eyitawo okwesogga omutendera gwa ttiimu 16 bwe yamalidde mu kifo kyakubiri n’obubonero 5 mu kibinja F.
Mu mupiira nga Croatia ekola amaliri (0-0) ne Morocco yataasa nnyo ennumba ez’obulabe era ekibalo kiraga nti yabeera n’omupiira ku bigere bye emirundi 115 yekka. Ono ttiimu enene okuli; Man City, Chelsea, Juventus n’endala zaatandise dda okumuperereza.
Jakub Kiwior Poland
Jakub Kiwior 22 omuzibizi wa Poland ne Spezia Calcio eya Yitale, eno ye World Cup gy’asoose okuzannya wabula akaluba mu kisenge naddala bwe kituuka ku kukuuma muntu ku muntu, takkiriza mulabe kumuyitako ate ng’akozesa obwongo bungi kizibu okuleeta penati mu kisenge.
Mu mupiira nga Poland ekubwa Argentina (2-0), Kiwior yataasa ggoolo etuuse ku layini okuyingira era wano buli omu yamunyeenyeeza omutwe n’okutendereza obwangu bw’alina mu kisenge. Yayambye Poland okuva mu kibinja C bwe baakutte ekyokubiri n’obubonero 4.
Tajon Buchanan
Tajon Buchanan 23 winga wa Canada ne Club Brugge KV eya Bubirigi abadde amaze ebbanga ng’asiikiriziddwa bassiniya okuli; Davis Alphonso ne Davis Jonathan wabula Buchanan bw’afunye omukisa okuzannya World Cup eno, alaze nti alina sipiidi etambuza omupiira okuva mu kisenge okugutuusa mu ntabwe y’omulabe ate n’akomawo okuzibira.
Mulungi nga ttiimu erina omupiira ate ne bw’eba esudde amanyi okuziba ebituli, ekirala agonda amagulu, alina engeri gy’asomba omupiira n’ateeka ekisenge ky’omulabe ku bunkenke.
No Comment