Lubega awangudde empaka z'okusiba emifumbi eza Mr Uganda

Dec 05, 2022

Lubega ali mu buzito bwa ‘middle’ yaddiriddwa Lameck Muwanga ow’obuzito bwa ‘welter’.

NewVision Reporter
@NewVision

GODFREY Lubega asitukidde mu mpaka z’okusiba emifumbi eza Mr Uganda Bodybuilding Championship ez’omwaka guno ezaabumbujjidde ku Mt. Zion Hotel mu kiro ekyakeesezza Ssande.

Zeetabiddwaamu abazannyi abaasusse mu 50 okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo. Travone Edwards ne Taresa Martin enzaalwa za Amerika be baaziramudde.

Lubega ali mu buzito bwa ‘middle’ yaddiriddwa Lameck Muwanga ow’obuzito bwa ‘welter’.

Abdul Naser Mwanje ow’obuzito bwa ‘light heavy’ akutte kyakusatu, Jeremiah Rwabuhinga (heavy) kyakuna. Axam Kisekka (bantam) mu kyakutaano ate Daniel Bukenya (Light) n’amalira mu kyomukaaga. Lubega ye yasitukira mu mpaka za Mr Kampala eza 2019.

Lubega (ku kkono) n'abamu ku basajja abeetamye mu mpaka.

Lubega (ku kkono) n'abamu ku basajja abeetamye mu mpaka.

Mu mpaka ze zimu Shamirah Mukyala yamezze abakazi ku mutenderwa gwa Miss Bikini ate Zulaika Najjuma n’asitukira mu za Miss Physic.

Zeetabiddwaako Sam Odong omukungu mu minisitule y’ebyenjigiriza n’emizannyo, Moses Al-Sayed Lubega, pulezidenti wa USPA omuggya, Twaha Ddungu pulezidenti wa Uganda Bodybuilding and Fitness Association, James Kasumba okuva mu kakiiko ka NCS akatwala emizannyo mu ggwanga n’abalala.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});