Gadaffi emezze Vipers omutendesi ne yeekwasa ekisaawe

Dec 05, 2022

"Batukubye naye simatidde olw’obubi bw’ekisaawe kino. Gadaffi eri bwe yafunye ggoolo n’etandika okukuba ddiimuula n’etulemesa n’okusamba obulungi."

NewVision Reporter
@NewVision

Gaddafi FC 1-0 Vipers FC

OMUTENDESI wa Vipers, Omubrazil Roberto Oliviera yalabiddwaako nga tatuula ku katebe ddakiika 90 ttiimu ye bwe yakubiddwa Gadaffi (1-0) mu mupiira gwa StarTimes Uganda Premier League ogwazannyiddwa ku kisaawe e Kakindu ku Ssande.

Ggoolo ya Alex Kitatta mu ddakiika yookubiri ye yawadde Gadaffi obuwanguzi buno ku nsiike eyabaddeko nnamungi w’abantu.

Wabula omutendesi wa Vipers, eyatudde binsobedde yeekwasizza ekisaawe. "Batukubye naye simatidde olw’obubi bw’ekisaawe kino. Gadaffi eri bwe yafunye ggoolo n’etandika okukuba ddiimuula n’etulemesa n’okusamba obulungi," Oliveira bwe yagambye.

Omutendesi wa Gadaffi, George Lutalo (eyatuddewo ku lwa Wasswa Bbosa ali ku kkoligo) yamatidde omutindo abazannyi be omutindo gwe baayolesezza.

Obuwanguzi bwayambye Gadaffi mu kyomusanvu n’obubonero 15 ate Vipers yalemeddwa okulinnya ku ntikko ya liigi yasigadde mu kyakusatu n’obubonero 20.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});