Sam Ssimbwa alekulidde ogw'okutendeka Kitara FC
Jun 06, 2023
SAM Ssimbwa abadde omutendesi wa Kitara FC eye Hoima alekulidde oluvannyuma lw'okumala emyezi ena (4) ku butendesi buno.

NewVision Reporter
@NewVision
SAM Ssimbwa abadde omutendesi wa Kitara FC eye Hoima alekulidde oluvannyuma lw'okumala emyezi ena (4) ku butendesi buno.
Bino bigenze okujja nga yaakamala okuyamba ttiimu eno okwesogga mu liigi ya babiywera eya StarTimes Uganda Premier League omwezi oguwedde.
Wabula kigambibwa nti Ssimbwa yalemye okukwatagana n'abakungu ba ttiimu eno okuzza endagaano ye obuggya kuba eggwaako omwezi guno ogw'omukaaga.
Joshua Atugonza akulira emirimu mu kiraabu eno yagambye nti bakyali mu luwummula oluvannyuma lwa liigi okuggwaako nga'era buli muntu akola bibye n'agamba nti yawuliddeko nti Ssimbwa ali Dubai.
Kitara etunulidde abatendesi okuli; Edward Golola ne Wasswa Bbosa eyayabulidde Gaddafi FC ey'e Jinja.
Ssimbwa nga tanneegatta ku Kitara, yali amaze ebbanga eriwera nga talina ttiimu yonna gy'atendeka bukya ayabulira URA FC mu August wa 2021.
Yasikira Mark Twinamatsiko eyagobwa mu January w'omwaka guno.
Ssimbwa y'omu ku batendesi abalina obumanyirivu kuba atendeseeko ttiimu eziwera okubadde, KCCA FC, URA FC, Express, Tooro United n'endala.
Related Articles
No Comment