Owa Vipers ayogedde ku kalulu ka CAF n'alaga amaanyi gaabwe we gali

Dec 13, 2022

“Baatutadde mu kibinja omuli ttiimu ennungi wabula naffe ttiimu banene nnyo okuvuganya mu mpaka zino. Okumegga TP Mazembe, terwali lukisakisa wabula twali ba maanyi. Ttiimu ezo tuziwa ekitiibwa wabula naffe balina okutuwa ekitiibwa.”

NewVision Reporter
@NewVision

Eggulo ku Mmande, Vipers lwe yategedde ttiimu z’egenda okuttunka nazo mu bibinja by’empaka za CAF Champions League. Bano baateereddwa mu kibinja C omuli; Raja Casablanca (Morocco), Simba SC (Tanzania) ne Horaya AC eya Guinea. 

Roberto Oliviera omutendesi wa Vipers agamba nti tatidde kalulu kano kuba ttiimu zonna ze bagenda okuzannya yali ezirabyeko nga zizannya era asobola okuziremesa okubakuba. Agamba nti abazannyi be bagenda kulwana masajja okulaba nga bava mu kibinja C wadde nga gwe mulundi gwabwe ogusoose okutuuka ku mutendera guno. 

Oliviera, omutendesi wa Vipers.

Oliviera, omutendesi wa Vipers.

“Baatutadde mu kibinja omuli ttiimu ennungi wabula naffe ttiimu banene nnyo okuvuganya mu mpaka zino. Okumegga TP Mazembe, terwali lukisakisa wabula twali ba maanyi. Ttiimu ezo tuziwa ekitiibwa wabula naffe balina okutuwa ekitiibwa,” Oliviera bwe yategezezza. 

Mu kaseera kano tutunuulidde liigi okulaba nga tumaliriza oluzannya olusooka n’oluvannyuma obwanga tubuzze ku mpaka za CAF Champions League. Tulina kati okutuusa February nga twetegekera empaka zino. 

Vipers, yafuuse ttiimu eyookubiri okuva mu Uganda okwetaba mu mpaka zino oluvannyuma lwa KCCA okukikola mu 2017. 

Leero, Vipers egenda kwambalagana ne Express FC mu liigi mu kisaawe e Wankulukuku. Vipers yeetaaga buwanguzi bwokka okweddiza entikko ya liigi ya 'Super'. Vipers eri mu kyakubiri ku bubonero 23 nga KCCA ekulembedde eri ku 25 mu mipiira 11. Express eri mu kya 10 ku bubonero 14.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});