Viper yaakugezesa 'ebyasi' ku ttiimu y'e Tanzania
Jul 31, 2023
Sizoni ewedde, Kagera Suagr yamalira mu kya 16 mu liigi y’e Tanzania n’obubonero 35 mipiira 30. Nicholas Kasozi ne Dissan Galiwango be bamu ku bazannyi Bannayuganda, Kagera Sugar be yakansizza okulaba nga beenyweza.

NewVision Reporter
@NewVision
MU kaweefube w’okulaba nga sizoni etandika balina ttiimu ennyweevu, bannantameggwa ba liigi y’eggwanga aba Vipers baakuzannya omupiira gw’omukwano ne Kagera Sugar FC ey’e Tanzania enkya ku Lwokubiri e Kitende. Omupiira guno gugendereddwaamu kugezesa bazannyi ba ttiimu eno abapya okulaba omutindo gwabwe we guyimiridde.
Omupiira guno tegusuubirwa kukkirizibwamu bawagizi olw’ensonga z’ebyekikugu. Vipers yeetegekera za kusunsulamu abaneesogga ez’ebibinja by’empaka za CAF Champions League nga yaakuttunka ne Jwaneng Galaxy eye Botswana mu luzannya olusooka. Ng’oggyeeko ezo, Vipers yeetegekera za FUFA Super 8 nga yaakuttunka ne BUL FC. Battunse ne Jinja North mu gw’omukwano wiiki ewedde ne bagimegga (3-0).
Sizoni ewedde, Kagera Suagr yamalira mu kya 16 mu liigi y’e Tanzania n’obubonero 35 mipiira 30. Nicholas Kasozi ne Dissan Galiwango be bamu ku bazannyi Bannayuganda, Kagera Sugar be yakansizza okulaba nga beenyweza.
Mu kaseera kano, Vipers etendekebwa Leonard Martins Neiva eyasikidde Alex Isabirye eyasuddewo omulimu guno omwezi guno. Mu katale k’abazannyi, Vipers yaakakansa abazannyi musanvu okuli; Giancarlo Lopez Rodriguez, Luiz Otavio (Tinga), Richard Matovu, David Bagoole, Grant Matsiko, Mohamed Salem Ekbad ne Paul Patrick Mbowa.
No Comment