Prisons bagikubye mu liigi y'okubaka ne kiwa KCCA essanyu

Dec 15, 2022

“Tukozesa abazannyi 12 bokka olw’obuvune naye tugenda kunoonya bassiniya tubongere mu ttiimu ate n’abazannyi abato, tetunaggwaamu maanyi.”

NewVision Reporter
@NewVision

Mu liigi y’okubaka

Prisons 50-54 NIC

KCCA 48-46 Police

Africa Renewal University 44-46 Ugx Luweero

Ugx Luweero 48-31 Posta

Makindye Weyonje 60-0 Mutlex Life Sport

ESSANYU lyongedde okubugaana abawagizi n’abazannyi ba KCCA Netball Club oluvannyuma lwa National Insurance Corporation (NIC) okubakubira Prisons ebadde ebavuganya ennyo ku ntikko ya liigi (54-50).

Eggulo, ekitundu kya liigi y’okubaka ekisooka bwe kyakomekkerezeddwa n’ensiike ttaano ku kisaawe kya Kamwokya Sports Arena.

KCCA etawangulanga ku kikopo kya liigi eno, sizoni eno etangaazizza emikisa gy’okuloza ku ssanyu lyakyo olwa ffoomu ennungi kw’eri, ye ttiimu yokka etannakubwamu oluvannyuma lw’okumegga baakirimaanyi NIC (39-37) ne Prisons (48-45) gye buvuddeko.

Ali Mugisha atendeka Nic (ku ddyo) ng'ayogerako n'omuzannyi we.

Ali Mugisha atendeka Nic (ku ddyo) ng'ayogerako n'omuzannyi we.

KCCA eggulo yafundikidde ekitundu ekisooka ne wiini ku Police (48-46) ekyaginywerezza ku ntikko n’obubonero 22, NIC bakyampiyoni ba liigi eno sizoni ewedde bali mu kyakubiri naye nga basibaganye ne Prisons ku bonero 18 mu kyokusatu.

Ali Mugisha atendeka NIC yagumizza abazannyi n’abawagizi nti ekitundu ekyokubiri bagenda kugulayo abazannyi abalala okuggumiza ttiimu, oluvannyuma lw’okuviibwako abazannyi empagiruwaga nga Joan Nampungu, Stella Oyella, Desire Obua n’abalala.

“Tukozesa abazannyi 12 bokka olw’obuvune naye tugenda kunoonya bassiniya tubongere mu ttiimu ate n’abazannyi abato, tetunaggwaamu maanyi,” Mugisha bwe yategeezezza.

Irene Eyaru kapiteeni wa KCCA agamba nti sizoni eno baakulwana okufiirawo ku buli ttiimu ebasala mu maaso okutuuka ng’ekikopo kibali mu ttaano.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});