Empaka za Eastern Africa University Games ziggyiddwaako akawuuwo e Ndejje

LEERO Lwamukaaga emizannyo gya yunivaste egy’omu buvanjuba bwa Afrika bwe giggyibwako akawuuwo ku Ndejje University mu disitulikiti y’e Luwero.

Empaka za Eastern Africa University Games ziggyiddwaako akawuuwo e Ndejje
By Gerald Kikulwe
Journalists @New Vision

Eastern Africa University Games

December 17-21, 2022

Ndejje University – Luwero

Yunivasite 40 ze zeezikakasiddwa okwetaba mu mizannyo gino egy’omulundi ogwe 12 okuva mu mawanga ag’enjawulo okuli; Uganda, Kenya, Tanzania, Burundi, Rwanda, South Sudan, DRC, Ethiopia, Comoros ne Seychelles.

Zaakwetaba mu mizannyo 20 okuli; Emisinde, Badminton, Basketball, Chess, Darts, Omupiira, Handball, Hockey, Karate, Okubaka, Rugby, Scrable, Okuwuga, Tabla Tennis, Taekwondo, Tennis, Volleyball, Woodball, Goalball ne Beach Handball.

Ebisaawe

Okusinziira ku Patrick Ssekigongo agamba nti bagenda kukozesa ebisaawe okuli; ekya Hockey e Lugogo, ebya yunivasite ya Ndejje, ebya Ndejje SS, ebya Bbaalakisi y’e Bombo wamu n’essomero lya Nandere SS.

Gya kuggulwawo mu butongole Rebecca Alitwala Kadaga omumyuka wa Katikkiro asooka leero lwe gitandise ate gyakukomekkerezebwa ku Lwokusatu (December 21, 2022) nga gya kulagibwa butereevu ku Urban TV n’emikutu gya Vision Group egy’enjawulo okuli; Radio n’empapula.

Ndejje Univasite abategesi be balina ekikopo kino kye baawangulira ku University of Dodoma eya Tanzania mu 2018 nga be bakyasinze okukiwangula emirundi 6 (2006, 2010, 2012, 2014, 2016 ne 2018) ku yunivasite zonna ez’omu Buvanjuba.