MMANDE SSAAWA 2:30;
Aston Villa - Liverpool
Ttiimu zino zibeera n'abazannyi bangi ku ttiimu z'eggwanga nga bwe bagenda bakomawo bakoowu ne kiwa ttiimu ezitwalibwa nga ennafu okuzikalubirako. Ku Mmande, Liverpool ekyalira ne Aston Villa mu Premier wabula abazannyi baayo (Liverpool) 7 babadde mu World Cup eyabadde e Qatar.
Abazannyi okul'; Alisson, Fabinho (Brazil), Ibrahima Konate (Bufalansa), Trent Alexander-Arnold, Jordan Henderson (Bungereza), Darwin Nunez (Uruguay) ne Virgil van Dijk (Budaaki) be baabadde mu World Cup era basuubirwamu obukoowu. Van Dijk yafunirayo obuvune era tagenda kuzannya okufaananako Konate eyaweereddwa wiiki nnamba okuwummula obulungi.
Aston Villa yabadde n'abazannyi 4 okuli; Leander Dendoncker (Belgium), Jan Bednarek, Matty Cash (Poland) ne Emiliano Martinez eyayambye Argentina okuwangula ekikopo. Martinez tannaddayo mu Aston Villa olw'ebikujjuko.
KLOPP YEEKENGEDDE
Omutendesi wa Liverpool, Jurgen Klopp agambye nti ng'oggyeeko abazannyi be okukooyera mu World Cup, baatuukidde mu Carabao Cup okuttunka ne Man City (eyabawanduddemu ku ggoolo 3-2) nga we banaatuukira ku Mmande okuzannya Aston Villa, obukoowu bugenda kuba bweyongedde.
Wabula yagumizza nti bagenda kuzannya mupiira gwa kuwangula kuba beetaaga kumalira mu bifo birungi.
Nga tebannagenda mu World Cup, Liverpool yali ewangudde emipiira 2 gya Premier egiddiring'ana n'egattako okukuba Derby (1-0) mu Carabao Cup. Nga bakomyewo, baazannye egy'okwegezaamu 2, ne bawangula AC Milan (4-1) n'okukubwa Lyon (3-1).
Liverpool, yaamukaaga ku bubonero 22 nga mu mipiira 14 erina wiini 6 zokka.
Obuwanguzi bwa Liverpool bugiyamba okusemberera ManU eyookutaano kyokka bw'ekubwa ate Brighton n'ewangula Southampton oba Chelsea okuwangula Bournemouth, bagiwanulayo mu kyomukaaga n'esibira mu kyomunaana.
"Aston Villa tetugitya wabula ewumudde okutusinga kyokka tulina okugiwangula kuba kye kitusuubirwamu," Klopp bwe yategeezezza. Aston Villa ya 12 ku bubonero 18 nga mu mipiira 15 ewanguddeko 5 n'ekubwa 7. Mu nsisinkano 5 ezisembyeyo mu mpaka zonna, Liverpool ewangudde 4 ne bagikuba 1.
Mu luwummula lwa World Cup, Aston Villa ezannye emipiira gy'okwegezaamu 4, ewangudde 1 ne bagikuba 3. Aston Villa yasemba okuwangula Liverpool mu 2020 ggoolo (7-2).