Aba ludo baagala kugubunyisa ggwanga mu 2023
Jan 16, 2023
Pulezidenti w’ekibiina kya Uganda Ludo Federation ekivunaanyizibwa ku muzannyo guno mu ggwanga, Hussein Kalule agamba, omwaka oguwedde gwabatambulidde nga bwe baagutegeka, wadde nga waliwo ebyabasoomoozaamu.

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision
Abakulira omuzannyo gwa ludo tebeevuma mwaka gwa 2022 oluvannyuma lw’okwetaba mu kikopo ky’ensi yonna omulundi ogusooka ne bakiwangula nga tebakubiddwaamu.
Pulezidenti w’ekibiina kya Uganda Ludo Federation ekivunaanyizibwa ku muzannyo guno mu ggwanga, Hussein Kalule agamba, omwaka oguwedde gwabatambulidde nga bwe baagutegeka, wadde nga waliwo ebyabasoomoozaamu.
BYE BEENYUMIRIRIZAAMU:
Nga bwe kyali ku kalenda yaffe ey’omwaka ogwedde, twasomesa baddiifiri abalamula omuzannyo, abakulembeze baafuna enkung’aana ezibabangula mu muzannyo nga bwe guteekeddwa okutambula, twatuuza enkiiko ez’omuzinzi mu bitundu eby’enjawulo mu ggwanga naddala mu disitulikiti eziri ewala kuno kwe twassa n’okukumaakuma abantu okwetaba mu muzannyo guno.
Daniel Wanyama (ku kkono) ng'akwasibwa pikipiki gye yawangula ng'alidde empaka za ssekinnoomu.
Liigi zaffe zonna okuli; League 1 eya wansi, National Ludo Championship eyookubiri ne National Ludo Super League eya babinywera zonna zaatabudde bulungi. N’empaka za bassekinnoomu eza Individual Championship nga zino zeetabwamu abazannyi ssekinnoomu tukoze bulungi wabweru w’eggwanga twakoze bulungi wadde nga twafunamu okusoomoozebwa ku lukalu lwa Afrika.
Kalule agamba nti liigi ya ‘super ey’omwaka 2022, yabaddemu okuvuganya okw’amaanyi kuba aba Nasana Galaxy abaawangudde ekikopo kino baabadde basibaganidde ku bubonero 38 ne Masaka Giants wabula nga bwe kituuka ku asinga wiini ennyingi, Nansana ereebya era n’etwala ekikopo. Mu za ssekinnoomu ezaali e Lugogo, Daniel Wanyama yawangula n’aweebwa pikipiki.
Twafunye kiraabu endala bbiri okuva mu bitundu by’eggwanga ezeegasse ku ‘super’ okwabadde Gulu City okuva mu bukiikaddyo bwa Uganda ne Kiboga United nga kino kiraga nti tugezaako okugaziya omuzannyo guno gutuuke mu bitundu eby’enjawulo, kuba tulinamu ne Masaka Giants, ne Buyende Utd okuva mu bitundu by’obuvanjuba.
Uganda yeetaba mu mpaka za ‘World Ludo Championship’ mu Nepal ne Dubai mu November omulundi gwayo ogsookera ddala n’ewangula ekikopo tekubiddwaamu ne kitufuula eggwanga lya Afrika eryasoose okusitukira mu kikopo.
Ttiimu y'eggwanga eya ludo ng'ekwasa Kalule ekikopo kye baawangula e Dubai.
Okuwangula ekikopo kino kyakutuyamba okulinnya mu nsengeka za ludo ez’ensi yonna. Uganda ebadde ekwata kyakubiri kya ku mwanjo ku ssemazinga wa Afrika ng’ate mu nsi yonna ffe tubadde mu nnamba bbiri. Tusuubira nti ensengeka empya bwe zinaafulumizibwa, tuyinza okubeera nga ffe bannamba emu mu nsi yonna.
OKUSOOMOSEBWA:
Ttiimu ya Uganda eya Individual Championship etagenze kuzannya mpaka za ssekinnoomu mu South Afrika olw’ebbula ly’ensimbi, ekintu ekyatuyisizza obubi kuba ffe twali tulina ekikopo kino mu Afrika.
Kiraabu ya Nansana Galaxy nayo yalemereddwa okuddayo okulwanirira ekikopo ekya Africa Ludo Club Championship’ kye yali yawangula omwaka oguwedde e Dubai lwa ssente. Ssente Gavumenti ze yalina okutuwa buli luvannyuma lw’emyezi esatu, tezaalabise sso nga zandituyambye okusasula ofiisi zaffe, abakozi, n’okusomesa abantu okulaba ng’omuzannyo guno gugenda mu maaso.
Baddiifiri baali balina okubangulwa ku mutendera gwa Afrika n’ogw’ensi yonna wabula obusobozi ne butubula kuba tetwalina ssente. Twayimiriza ne pulogulaamu eyalina okubeera mu masomero, nga tusuubira okugiddamu omwaka guno 2023.
BYE BATUNULIDDE:
Omwaka ogujja, tutunulidde okugendako mu bugwanjuba bwa Uganda okulaba nga tusobola okutegekayo ekibinja ekisooka n’ekyokubiri kitusobozese okufunayo ttiimu enejja mu kibinja ekisooka mu 2024.
Tusuubira okufunayo ttabamiruka mwe tunaakubaganyiza ebirowoozo ku nsonga z’omuzannyo guno. Tulina okugenda okulwana okweddiza ekikopo kya Africa Ludo Cup of Nations (ALCON) kye twawangula mu 2021 nga kiwakanirwa amawanga ga Afrika buli luvannyuma lwa myaka ebiri, nga kuno kwe kuli n’eza ‘International Individual Ludo Championship’ eza ssekkinoomu.
Kalule, pulezidenti wa ludo mu ggwanga.
Tugenda kuyingirako ne mu masomero, tusuubira n’okutegeka liigi y’abakungu oba ‘Corporate League’, kuba tubaddeko nabo. Tulina okufunayo ba ddiifiri abapya, n’okusomesa abaliwo okulaba nga bagenda ku mutendera gwa Afrika, nga we tunaatuukira 2024.
GYE BASUUBIRA OKUGGYA SSENTE;
Enkula y’omuzannyo guno egusoboseza okufunamu ekyo kye gusobola okutandikirako kuba tubadde tetufuna ssente okuva mu Gavumenti, n’okukozesa kiraabu zaffe nga tuyita mu kuzikunga. Tuzze tufuna abavujjirizi wabula abasinga ne bagenda olwa COVID-19 nga tusuubira okufuna abatuteekamu ssente abalala naddala ku ntegeka zaffe ennene kuno kwe tunaayongereza Gavumenti z’eneetuwa.
No Comment