Ttiimu y'eggwanga eya ludo eri mu kattu
Nov 10, 2021
ABA Uganda Ludo Federation bali mu kattu k’okunoonya ensimbi ttiimu y’eggwanga z’enaakozesa nga yeetabye mu mpaka za Afrika ng’omwaka guno guggwaako.

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision
Uganda Doves’ eya Ludo ebadde mu bintu eby’enjawulo mu ggwanga nga yeegezesa ne ttiimu ennonderere nga mu masekkati ng’eremagana 3-3, bukiika ddyo n’ewangula 10-3 ne Greater Masaka n’ekuba 6-3 gye balondedde abazannyi munaana ku ttiimu y’eggwanga.
Ttiimu y'eggwanga eya ludo eri mu kattu
Bano bagenda kukiikirira Uganda mu mpaka za Africa Ludo Cup of Nations (AL-CON) mu December w’omwaka guno e South Afrika okuva nga 1 okutuusa 4.
Pulezidenti w’ekibiina kino, Hussein Kalule agamba nti, ‘tukyalina okusoomoozesa kw’okunoonya 115,300,000/= ezinaalabirira abazannyi mu mpaka, nga tusaba gavumenti nga tuyita mu NCS etuyambeko.’
Pulezidenti wa Uganda Ludo federation Hussein Kalule (ku ddyo) nga batongoza omujoozi gwa ttiimu y'eggwanga Uganda Doves
No Comment