Munnayuganda aggundira enguumi e Budaaki Willy, ‘The Ring Tiger’ Kyakonye yeesomye okuttira Omuzungu Soso Abuladze mu miguwa bwe bunaaba bubeefuka ku Lwomukaaga luno January nga 28, 2023.
Kyakonye waakwang’anga Abuladze munnansi wa Georgia nga battunkira omusipi gw’eggwanga erya Budaaki ogwa ‘Dutch National Heavyweight title.
’
Kyakonye awaga kukuba Muzungu Soso Abuladze bwe battunka ku musipi gw'eggwanga erya Budaaki.
Bano baakuvuganya mu buzito bwa ‘Heavy’ kiro 91 n’okuda waggulu lawundi 10. Olulwana luno luli mu kisaawe gagggadde ekya WTC Leeuwarden Boxing Arena ekisangibwa mu kibuga Leeuwarden e Budaaki.
Kyakonye 28, agamba waakukeesa Abuladze eng’uumi yejjuse ekyamuleeta mu muzannyo guno n’akakasa Bannayuganda nga bw’atayinza kusumaagirira ku musipi guno.
Kyakonye yazannyirako Lukanga Boxing Club kyokka yasinga kucaaka ku ttiimu y’eggwanga ‘The Bombers’ gye yazannyira wakati wa 2013 ne 2017.
Ajjukirwa olw’okuwangulira Uganda omudaali gw’ekikomo mu mpaka za Africa Boxing Championship eza 2015 e Morocco. Luno lulwana lwe lwa 10 mu bikonde ebya Pulofeesono nga muzisembye 9 takubiddwa so nga 5 aziwangulidde ku kikonde tonziriranga.
Ye Munnayuganda yekka eyaakazannyako mu mpaka z’ensi yonna eza ‘World Boxing Series’ kye yakola wakati wa 2015 ne 2017.