KAWEEFUBE w’omukubi w’ensambaggere Golola Moses ‘Of Uganda’ okumaliriza akademi ye eya Golola Talent Academy ayongedde okweruka abazirakisa bwe bamudduukiridde n’emifaliso kwossa ebikozesebwa ebirala bimuyambeko.
Enkata eyamukubiddwa mulimu emifaliso kwossa ebikozesebwa omubadde giraavu, emijoozi omutendekebwa bimukwasiddwa aba Marine Time Cargo abamukyaliddeko ku jjiimu ye esangibwa e Kawempe- Lugoba.
Emifaliso gyakuteekebwa mu bisulo mw'agenda okusuuzanga abakubi b’ensambaggere mu kiseera kino abatendekebwa mu kifo kye kimu.
Golola bwe yabadde akwasibwa emifaliso gy'agenda okuteeka mu bisulo mwanaasuza abakubi b'ensambaggere ku jjiimu ye esangibwa e Kawempe-Lugoba. Ekif-FRED KISEKKA
Golola wano waasinzidde okwebaza abazirakisa bano kyokka n'asaba abalala omuli ne Gavumenti okwongera okumudduukirira.
John Nsamba akulira ebya kitunzi mu Marine Cargo agamba basazeewo okudduukirira Golola ng’emu ngeri gye basobola okumuddiza olw’okulafubanira omuzannyo guno okugutuusa we guli leero.
Golola yatandiika akademi eno mu 2017 gy'agamba si yaakukoma kukuza bitone by’abazannya ensambaggere bokka wabula emizannyo gyona naddala egirimu okulwana nga; ebikonde, Taekwondo, Karate, emifumbi, n’emirala.