Abazze bawangula eza Mbarara City Rally
Ponsiano Lwakataka (2010, 2013, 2021, 2022)
Jas Mangat (2012, 2018, 2019)
Duncan Mubiru (2014, 2015)
Ronald Ssebuguzi (2016)
Omar Mayanja (2017)
ABAVUZI 9 tebalabiseeko mu mpaka za ‘2023 Mbarara City Rally’ ezigguddewo kalenda y’omwaka guno mu disitulikiti y’e Mbarara ekisizza omuwendo gw’abeetabyemu ku 28 okuva ku 38 abeewandiisizza.
Bano okuli; Ssempera Kalule (Subaru Impreza Gc8), Faisal Kayiira (Subaru Impreza Gc8), Godfrey Sodo Aine (Subaru Impreza GVB), Gilberto Balondemu (Toyota Runx), Issa Nyanzi (Subaru Impreza), WO1 Ismail Lule (VW Golf GTi), Peter Gensi (Toyota Celica), Ismael Ortega (Toyota Runx) ne Jas Mangat (Mitshubish Lancer Evo x R4).
Leero (Lwamukaaga) le lunaku olusoose ng’empaka zikomekkerezebwa enkya (Ssande). Zaakutolontoka omugatte gwa kiromita 201, nga 134 ku zino ze zivuganyizibwako ate 67 tezivuganyizibwako.
Peter Kalule
Zaakwetoloola ebitundu okuli; Bam Petroleum (15.3km) nga baakugidding’ana emirundi ebiri, Isingiro (19km), Bishop Kainobwisho (9.37km), Ex effect (25.67km) nayo yaakudding’ana emirundi ebiri.
Omulundi FMU yayongedde okumyumyula amateeka baddereeva ge balina okugoberera kyokka abasinga baagaanye okwetaba mu kusomesebwa amateeka gano ogwategekeddwa wiiki bbiri emabega, wabula FMU ebalindidde mu kkoona okulaba ani agazimuula.
Abeetabyemu