Buli lukya Munnayuganda omuddusi w’embiro empanvu Jacob Kiplimo ayongera okuva mu kifaanyi kya munne Joshua Cheptegei ku lugendo lwaliko okufuuka omuddusi asinga obulungi mu ggwanga n’ensi yonna okutwaliza awamu.
Ku makya ga leero mu kibuga Bathurst ekya Australia, Kiplimo ayingidde mu byafaayo nga Munnayuganda owookubiri eyali awangudde emisinde gy’ensi yonna egy’okutolontoka ebyalo egya World Athletics Cross Country Championships.
Bannayuganda bastu okuli; Martin Kiprotich, Isaac Kibet ne Rogers Kibet be baasoose okukulembera empaka zino mu ngeri y'okuyambo okuwa Kiplimo ne Cheptegei sipiidi kwe balina okuddukira.
Wabula mu ddakiika ey'e 15, Cheptegei asomose okukkakkana nga akulembedde ekibinja ekibadde kisigaddemu abaddusi omukaaga.
Nga ebula omulundi gumu, Kiplimo yeesomodde ku Cheptegei okukulembera ekibinja okukkakkana nga Kiplimo kiromita 10 okuziwangula aziddukidde eddakiika 29 ne sekonda 17 n'addirirwa Berihu Aregawi enzaalwa ya Ethiopia mu ddakiika 29 ne sekonda 26 olwo Joshua Cheptegei nga era ye kyampiyoni w’empaka zino mu 2019 n'amalira mu kifo kyakusatu mu ddakiika 29 ne sekonda 37 okuwanguula omudaali ogw’ekikomo.
Ttiimu ya Uganda ebadde tennawangulayo mudaali mu mpaka zino, obuwanguzi bwa Kiplimo ne Cheptegei bubabinusizza amasejere.
Mu misinde emirala Uganda gye yeetabyemu, egy'abakazi bakafulu egya kiromita 10 , Munnakenya Beatrice Chebet ye yagiwangudde nga musaayi muto Prisca Chesang yamalidde mu kyamusanvu, Stella Chesang kya 10 nga yaddiriddwa Doreen Chesang.
Egy'okuwaanyisa obuti nagyo gyawanguddwa Kenya nga Uganda yamalidde mu kifo kya mwenda.
Mu z'abalenzi bamusaayimuto, Dan Kibet ye yagezezaako ku Bannakenya wabula ne bitamutambulira bulungi nga yamalidde mu kyakuna Ishamael Kipkurui ye yaziwangudde nga yaziddukidde eddakiika 24 ne sekonda 29.
Muzabawala bamusaayi muto Ethiopia yeyazeefuze nga munnayuganda Bentalin Yeko yamalidde mu kya 14 nga yadiriddwa Charity Cherop ne Felister Chekwemoi.
Mu misinde gino Uganda emalidde mu kifo kyakusatu n’emidaali ena nga ku gyo gumu gwa zaabu ate esatu gya kikomo.
Empaka ziwanguddwa Kenya n’emidaali 10 nga ku gyo mukaaga gya zaabu nga Ethiopia yamalidde mu kyokubiri nayo n’emidaali 10 nga kuliko ebiri egya zaabu.