University League ekomyewo

UGANDA Martyrs University Nkozi bakyampiyoni ba liigi ya yunivasite omwaka oguwedde be balidde empanga okuggya akawuuwo ku mupiira oguggulawo sizoni empya 2023 etandika nga March 7.

Patrick Ssebuliba ku kkono, Peninnah Kabenge, Vincent Kisenyi ne Obal Atubo
By Gerald Kikulwe
Journalists @New Vision

Akalulu akakwatiddwa ku woteeri ya Kati Kati e Lugogo, Uganda Martyrs kaagisudde mu kibinja A mwe bali ne Kabaale University, Bugema ne University of Kisubi (Unik).

Eric Kisuze atendeka Nkozi agamba nti ttiimu zonna mu kibinja kino z’amaanyi wabula yeekengedde Bugema ebadde yaakabalemesa okwesogga fayinolo y’emizannyo gy’omu buvanjuba bwa Afrika egibadde e Ndejje bwe yabakubira ku penati (7-6) oluvannyuma lw’eddakiika 90 okuggweera mu maliri ga (0-0).

Meddy Nyanzi atendeka Bugema olwategedde ekibinja akalulu mwe kamusudde n’ayisa omukono mu maaso kuba teyalabyemu ttiimu emutiisa kwang’anga okuggyako okutya olugendo lw’e Kabaale mu nsiike y’oku bugenyi.

Okwawukanako ne sizoni ewedde eyeetabwamu yunivasite 22, omulundi guno kweyongeddeko bbiri okuweza omuwendo gwa 24 nga zonna zaateereddwa mu bibinja eby’enjawulo mukaaga. Ttiimu yokka ekulembera ekibinja ye yeesogga ‘quarter’ n’endala bbiri ezinaamalira mu kyokubiri n’obubonero obungi.

Peninnah Kabenge ku kkono n'omumyuka we Vincent Kisenyi

Peninnah Kabenge ku kkono n'omumyuka we Vincent Kisenyi

Peninnah Kabenge pulezidenti w’ekibiina ekifuga emizannyo gya yunivasite mu ggwanga ekya ‘Association of Uganda University Sport (AUUS)’ yasabye yunivasite okulinnyisa omutindo gw’ebisaawe kuba ebitatuukanye tebigenda kukkirizibwa kukyaza liigi eno.

“Liigi ya yunivasite kati ekulaakulanye, sizoni 11 zitegeeza kinene, tulina okwewala okutambula nga bakyakayiga, y’ensonga lwaki amateeka galina okugobererwa ennyo omwaka guno,” Kabenge bwe yategeezezza.

Ebibinja ebirala ebitaano

B: Islamic University in Uganda (IUIU), MUBS, Victoria University ne YMCA. C: Kyambogo, Makerere, Ndejje ne MUNI. D: KIU, UCU, Busitema ne Kumi. E: SLAU, IUEA, Nkumba ne Gulu. F: Kampala University, ISBAT, Bishop Stuart ne Mbarara University of Science and Technology.