OMUWUWUTTANYI, Shafiq Kagimu yeegasse ku Gor Mahia FC ey’e Kenya ku ndagaano ya myezi ena. Kagimu eyaliko kapiteeni wa URA FC abadde takyalina ndagaano na ttiimu eno.
Ono azzeemu okubeera wansi y’eyaliko omutendesi we ku Cranes, Johnathan McKinstry nga mu kaseera kano atendeka Gor Mahia. McKinstry nga yaakaweebwa omulimu guno, yakansizaawo Patrick Kaddu eyava mu Kitara FC makkati ga sizoni.
Abazannyi abalala abakansiddwa McKinstry kuliko, Sylvester Owino, Boniface Odhiambo, Gilbert Otieno, Jerome Wangai ne Parmenas Ochola. Gor mahia y’ekulembedde liigi ya liigi ya Kenya ku bubonero 42 mipiira 20.