Ebyemizannyo

Poliisi y'e Nansana emezze ttiimu ya Ghetto y'e Nansana mu mupiira

Nsubuga yagambye nti basazeewo okunyweza enkolagana wakati waabwe n’abavubuka ba Ghetto, bangi be balowooza nti beenyigira mu bumenyi bw’amateeka nga baagala okulaba ng’amaanyi ge bassa mu bikolwa bino bagazza mu bintu ebibayamba okwongera ku nnyingiza yaabwe.

Nsubuga (mu nkoofiira) ng'abuuza ku bazannyi ba Ghetto.
By: Steven Kiragga, Journalist @New Vision

ABASERIKALE ba poliisi baanyiyizza ttiimu y’abavubuka be Ghetto z’e Nansana omupiira bwe baabakubye (4-1) mu mupiira ogw’okunyweza enkolagana wakati wa poliisi n’omuntu wa bulijjo. Omupiira guno gwategekeddwa RDC wa Nansana Nsubuga Ali.

Nsubuga yagambye nti basazeewo okunyweza enkolagana wakati waabwe n’abavubuka ba Ghetto, bangi be balowooza nti beenyigira mu bumenyi bw’amateeka nga baagala okulaba ng’amaanyi ge bassa mu bikolwa bino bagazza mu bintu ebibayamba okwongera ku nnyingiza yaabwe.

Ono agamba nti ono y’omu ku kaweefube w’okulaba nga balwanyisa ebikolwa by’obumenyi era n’asaba abavubuka okwewala abantu ababayingiza mu ntalo z’obyobufuuzi ky’agamba nti kirese bangi mu makomera.

DPC Tayebwa ng'alina by'alaga RDC.

DPC Tayebwa ng'alina by'alaga RDC.

DPC wa Nansana, Sp Apollo Tayebwa omu ku baazannye omupiira guno yakinogaanyizza nga bwe baagala okulaba ng’abatuuze n’ebintu byabwe bikuumibwa okwewala abamenyi b’amateeka. N’agattako nti baagala bagonjoola obutakkaanya obubaddewo wakati wa poliisi n’abavubuka b’omu Ghetto.

Mu mupiira guno ogwabadde ogw’ebbugumu ku kisaawe e Nabweru, abaserikale ba poliisi obwedda abayimba ennyimba eziwaana ttiimu yaabwe baajaganyizza olw’okukuba abavubuka ba Ghetto ne bategeeza nga bwe babadde batendekebwa n’amaanyi ne bawera amaanyi gano okugassa ne mu kulwanyisa ebikolwa by’obumenyi bw’amateeka.

Oluvannyuma lw’omupiira, waabaddewo n’emisinde gy’okwetooloola ebyalo wakati wa poliisi n’abavubuka ba Ghetto nga gino gyawanguddwa aba Ghetto abaakamudde abaserikale entuuyo.

Ssentebe wa divizoni y’e Nansana, Ssaalongo Joseph Matovu yasiimye poliisi olwa kaweefube ono n’agibasa okukwatagana n’abakulembeze okumalawo obumenyi bw’amateeka.

Tags:
Nansana
RDC Ali Nsubuga
Mupiira
Ghetto
Poliisi
Sp Apollo Tayebwa
DPC