Abayizi basomeseddwa ku bikwata ku mizannyo gya Olympics

Guno gwabadde mulundi gwamukaaga ng’empaka zino zibeerawo ng’era abayizi baasengekeddwa nga basinziira ku bigobererwa mu mizannyo gya Olympics ne baavuganya ku nsonga ezeekuusa ku mizannyo gino.

Annet Nakamya (ku kkono), owa UOC ng'akwasa abayizi ba Green Hill ebirabo.
By Samson Ssemakadde
Journalists @New Vision
#UOC #Don Rukare #Olympics #Kabojja International School

AMASOMERO 42 okuva mu bitundu bya Uganda eby’enjawulo geetabye mu mpaka z’okugezesebwa mu kumanya empisa ezigobererwa mu mizannyo gya Olympics, ng’empaka zino zaabadde ku ssomero lya Kabojja International School e Buziga mu Makindye.

Guno gwabadde mulundi gwamukaaga ng’empaka zino zibeerawo ng’era abayizi baasengekeddwa nga basinziira ku bigobererwa mu mizannyo gya Olympics ne baavuganya ku nsonga ezeekuusa ku mizannyo gino.

Rukare (ku ddyo) ng'akwasa akulira essomero lya Sam Turya ekirabo. Kabojja,

Rukare (ku ddyo) ng'akwasa akulira essomero lya Sam Turya ekirabo. Kabojja,

Pulezidenti w’akakiiko akaddukanya emizannyo gya Olympics aka Uganda Olympic Committee (UOC), Donald Rukare agamba nti, “Empaka zino zigendererwamu okulaba nga tubunyisa ebikwatagana ku mizannyo gya Olympics eri abaana abato nadala mu masomero.’’

Zino kibayamba n’okukola emikwano, okwewa ekitiibwa, wamu n’okulaba ng’ofuuka omuwanguzi mu by’obeera okola mu bulamu.