Amasomero gabanguddwa ku mizannyo gya Olympics

Guno gugenda kubeera mulundi gwamukaaga ng’empaka zino zitegekebwa, ng’ez’omulundi guno zigenda kubeera Kabojja International School e Buziga nga mugenda okwetabwamu amasomero 25 agagenda okuvuganya mu nsonga ezeekuusa ku by’emizannyo gya Olympics.

Iga ng'aliko (ku ddyo) ng'aliko by'asomesa.
By Samson Ssemakadde
Journalists @New Vision
#Uganda Olympic Committee #Kabojja International School e Buziga #Isima Iga #Lugogo

AMASOMERO okuva mu bitundu bya Uganda eby’enjawulo gagenda kuba gakontana mu kumanya n’okugezesebwa empisa ezigobererwa mu mizannyo gya Olympics.

Guno gugenda kubeera mulundi gwamukaaga ng’empaka zino zitegekebwa, ng’ez’omulundi guno zigenda kubeera Kabojja International School e Buziga nga mugenda okwetabwamu amasomero 25 agagenda okuvuganya mu nsonga ezeekuusa ku by’emizannyo gya Olympics.

Ssaabawandiisi w’ekibiina kivunaanyzibwa ku by’ennono n’Ebyenjigiriza mu UOC, Isima Iga agamba, “Empaka zino zibeera n’ekigendererwa kya kubunyisa bikwatagana ku mizannyo gya Olympics ku baana, n’okubaganya ebirowoozo ku nsonga ezitaataganya ebyemizannyo mu ggwanga ensangi zino.”

Olukung’aana luno lwabadde ku kitebe ky’ekibiina ekiddukanya emizannyo gya Olympics mu Uganda ekya Uganda Olympic Committee e Lugogo bwe baabadde basinkanye abasomesa okuva mu masomero gano.