Empaka z'amasomero ga siniya ez'okuwuga eza Uganda Swimming Federation Secondary Schools Inter swimming Gala ez’omulundi ogw’omunaana zaakomekerezeddwa akawungeezi k'eggulo ku ssomero lya Green Hill Academy e Kibuli nga aba Green Hill Academy bazeefuze.
Abawuzi Nga Bayingira Amazzi Mu Mpaka Za Masomero Ga Siniya.800
Seroma Christian High School yakutte kyakubiri n’obubonero 1452, Elite High School Entebbe kyakusatu n’obubonero 1173 ate Kibuli Secondary chool ye yasibye ekira no’bubonero 153 nga wonna awamu amasomero ga siniya 11 ge geetabye mu mpaka zino.
Abawuzi N'emidaali Gye Baawangudde.
Pulezidenti W'ekibiina Ky'okuwuga Moses Mwase.
Empaka zino zitegekebwa ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okuwuga mu ggwanga ekya Uganda Swimming Federation buli mwaka n’ekigendererwa eky’okubunyisa omuzannyo gw’okuwuga mu masomero wamu n’ebitundu by’eggwanga eby’enjawulo.