Lubega yeetegekera kukiikirira Uganda mu z'emifumbi e Canada

Apr 20, 2023

Omuzannyi w’emifumbi Mr. Uganda Godfrey Lubega yeetegekera mpaka za nsi yonna eza INBF World Bodybuilding Qualifiers

NewVision Reporter
@NewVision

Omuzannyi w’emifumbi Mr. Uganda Godfrey Lubega yeetegekera mpaka za nsi yonna eza INBF World Bodybuilding Qualifiers ez’okuyindira mu kibuga Montreal e Canada ku nkomerero y’omwezi guno.

 

Empaka mw’agenda okukiikirira Uganda zaakuzannyibwa wakati wa April 29 ne 30 omwaka guno.

Mu mpaka zino waakuvuganya mu buzito bwa ‘Middle’ kkiro 75. Lubega eyawangudde empaka z’eggwanga mu kuzimbya emifumbi eza Mr. Uganda omwaka guno agamba kibadde kirooto kye okuzeetabamu.

Ssinga Lubega amalira mu bifo eby’enkizo waakwesogga empaka za Mr. Universe ez’okubeera mu kibuga London e Bungereza mu June w’omwaka guno. Ng’oggyeeko okuwangula eza Mr. Uganda, Lubega yaliko Mr. Kampala bwe yawangula empaka zino mu 2019.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});