Morocco: Akati kokka Afrika k'esigazza mu World Cup
Dec 06, 2022
MOROCCO ke kati k'ekibiriiti Afrika k'esigazza mu World Cup oluvannyuma lw'abakiise abalala okuli Senegal, Ghana, Cameroon ne Tunisia okuba nga baawanduka dda. Senegal endala eyava mu kibinja, yakubiddwa Bungereza ku Ssande (3-0).

NewVision Reporter
@NewVision
Leero mu World Cup:
Morocco - Spain, 12:00
MOROCCO ke kati k'ekibiriiti Afrika k'esigazza mu World Cup oluvannyuma lw'abakiise abalala okuli Senegal, Ghana, Cameroon ne Tunisia okuba nga baawanduka dda. Senegal endala eyava mu kibinja, yakubiddwa Bungereza ku Ssande (3-0).
Leero, essaala z'Abafrika ziri ku Morocco nga basaba yeesogge 'quarter' ng'ekuba Spain bwe battunka. Morocco ebadde emaze emyaka 36 nga tetuuka wano.
Omutendesi Walid Regragui yasabye batabani be okukomyawo obuvumu bwe baalaze nga bakulembera ekibinja F omwabadde Croatia, Belgium ne Canada.
Morocco, emaze emipiira 4 egy'omuddiring'anwa nga tekubwa mu World Cup (ewangudde 2 n'amaliri 2) nga singa ewangula ogwa leero, ejja kuba ttiimu ya Afrika esoose okumala emipiira 5 gy'omuddiring'anwa nga tekubwa mu mpaka zino okuva Cameroon lwe yakikola mu 1990.
Youssef En-Nesyri ayagala kufuuka nzaalwa y'e Morocco asoose okuteeba ggoolo 3 mu World Cup emu.
Okuva mu 2010 Spain lwe yavvuunuka oluzannya luno (nga kw'olwo yawangula ekikopo e South Afrika), ebadde teddangamu kutuuka ku 'quater' nga mu 2018, Russia ye yagiwandula ku peneti 4-3 oluvannyuma lw'eddakiika 120 okuggwa (1-1).
Spain bwe yali eva mu kibinja, bangi baavumirira obukodyo bw'omutendesi Luis Enrique gwe baagamba nti ku mupiira Japan mwe yabakubira (2-1), yazannya gwa butiitiizi nga yeewala kusisinkana Brazil ku luzannya luno.
MOROCCO EKOLA EKYA NIGERIA?
Omulundi gwokka Spain gwe yali ekubiddwa ttiimu ya Afrika mu World Cup, gwaliwo mu 1998 Nigeria ng'ebakuba ggoolo 3-2. Ku mulundi ogwo, omutendesi Luis Enrique yali mu ttiimu ya Spain eyasooka. Spain ekubye ttiimu za Afrika emirundi 3 n'amaliri omulundi gumu.
No Comment