KCCA etandise okusumaagirira ku kikopo kya liigi y'okubaka, NIC egiwanuddeyo ku ntikko

Apr 22, 2023

EMIKISA gya ttiimu ya KCCA ey’okubaka okuwangula ekikopo kya liigi ya babinywera sizoni eno gizzeemu omukoosi, bw’esirittuse n’eva ku ntikko okudda mu kifo ekyokubiri.[

NewVision Reporter
@NewVision

NIC 43-41 KCCA

Mutelex Life Sport 37-53 Makindye Weeyonje

Posta 30-50 African Renewal

Prisons 55-38 UPDF

EMIKISA gya ttiimu ya KCCA ey’okubaka okuwangula ekikopo kya liigi ya babinywera sizoni eno gizzeemu omukoosi, bw’esirittuse n’eva ku ntikko okudda mu kifo ekyokubiri.[

Kiddiridde okukubibwa ensiike esookedde ddala sizoni eno, National Insurance Corporation (NIC) abalina ekikopo kya sizoni ewedde bwe babeesasuzza mu gw’okudding’ana ku bugoba (43-41).

KCCA yamegga NIC (39-37) mu nsiike ya sizoni eno eyasooka era ebadde yaakazannya ensiike 18 nga zonna eziwangudde wabula NIC okugisuuza obubonero eggulo ku kisaawe kya Kamwokya Sports Center, kyagizizzaamu emabega, kati okutangaaza emikisa gy’ekikopo erina kulwana butaddamu kukubwa mu nsiike 3 ezisigaddeyo.

 

Kati NIC ne KCCA baakazannya ensiike 19, benkanya obubonero 34, wabula NIC eri ku ntikko lwa nfissi ya ggoolo omugatte 451 ate KCCA esigazaawo 366. Kitegeeza NIC esingako KCCA enjawulo ya ggoolo 85.

Hassan Nouredin Kato omumyuka w’omutendesi wa KCCA agamba nti NIC babadde bagisobola naye ensobi entono ze bakoze zibakubisizza naye tebagenda kuva ku mulamwa, ensiike 3 ezisigaddeyo zonna baagala kuziwangula.

Ate Ali Mugisha amyuka omutendesi wa NIC agamba nti olutalo bagenda kululwana okutuusa ku ssaawa esembayo, tebalina ttiimu gye bagenda kunyooma.

NIC eddako kuzannya Prisons ku Lwokusatu lwa wiiki ejja ate KCCA ezannye UCU ku lunaku lwe lumu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});