KIRAABU z’ensambaggere mu ggwanga zironze Malik Kaliisa ku Bwapulezidenti w’ekibiina kya Uganda Kickboxing Federation ow’ekiseera.
Kiraabu 25 okuli; UPDF, Police, Prisons, Pentagon, Hard Body, Kampala University n’endala ze zituuzizza ttabamiruka w’okulonda ayindidde ku Fusion Fast Sports e Bugoloobi.
Simon Peter Komakech omukungu w’akakiiko ka Uganda Olympics Committee (UOC) y'akuliddemu okulondesa.
Kaliisa eyali muninkini wa Sylvia Owori yawangulidde ku bululu 29 n'amegga Titus Tugume eyabuseeyo n’obululu 5 bwoka.
Kaliisa
Abalala abalondeddwa kuliko; Lt. Richard Magezi alondeddwa okumyuka Kaliisa, Latif Walugembe (Ssabawandiisi), Mark Ogwang (Muwaniika), Paul Kirenga (Mwogezi) ne Sadat Yiga akulira akakiiko akategesi.
Ekisanja ekyabaweereddwa kya myezi mukaaga ng’omulimu omukulu ogwabalondesezza gwa kutegeka kulonda okunaabaawo mu November w’omwaka guno kwossa okukola ennongoosereza mu ssemateeka abatwala.
Omuzannyo gw’ensambaggere gumaze emyaka 4 mu ndooliito ez’obukulembeze okuva 2019.