Munnayuganda atimpudde Omumerika n'asitukira mu musipi gw'ensi yonna

MUNNAYUGANDA Sulaiman Ssegawa aggundira enguumi mu Amerika asitukidde mu musipi gwa WBC-USA Featherweight title.

Munnayuganda atimpudde Omumerika n'asitukira mu musipi gw'ensi yonna
By Fred Kisekka
Journalists @New Vision

MUNNAYUGANDA Sulaiman Ssegawa aggundira enguumi mu Amerika asitukidde mu musipi gwa WBC-USA Featherweight title.

Ssegawa akubye Omumerika Miseal Lopez mu lulwana olubumbugidde mu kibuga Washington mu Amerika.

Olulwana luno lubadde mu Entertainment and Sports Arena.

Ssegawa 31, okusitukira mu musipi guno akubye Lopez ekikonde ki tonziriranga mu lawundi eya 10 ekimulese ng’alaba munyeenye.

Segawa ng'attunka n'Omumerika

Segawa ng'attunka n'Omumerika

Luno lubadde lulwana lwe lwa 20 mu bikonde ebya pulofesono kwawangudde 16 akubiddwa 3 n’okulemagana 1.

Yakiikirira ttiimu y’eggwanga ey’ebikonde ‘The Bombers’ n'awangula omudaali gwa feeza mu mpaka za Eindhoven Box Cup e Budaaki mu 2016.

Yali ku ttiimu eyeetegekera emizannyo gya Olympics egya 2016 e Brazil.

Mu kiseera kino akwata kifo kya 20 mu baggunzi b’enguumi abasinga ettabu mu buzito bwa ‘Feather ne Light’ mu nsi yonna.