NIC eyagala kweddiza kikopo kya 'East Africa' mu kibuga Nairobi
May 13, 2023
TTIIMU ya National Insurance Corporation (NIC) ey’okubaka egenze yeeswanta okweddiza ekikopo ky’empaka z’omu buvanjuba bwa Afrika kye baawangula omwaka oguwedde.

NewVision Reporter
@NewVision
TTIIMU ya National Insurance Corporation (NIC) ey’okubaka egenze yeeswanta okweddiza ekikopo ky’empaka z’omu buvanjuba bwa Afrika kye baawangula omwaka oguwedde.
Bano baasitudde ekiro ekyakeesezza eggulo (Lwakutaano) okwolekera ekibuga Nairobi ekya Kenya empaka zino gye zigenda okubeera. Leero (Lwamukaaga) gwe mukolo oguziggulawo mu butongole ate enkya Ssande ttiimu zitandika okweraga eryanyi.
Nic
NIC be bakyasinze okuwangula ekikopo kino emirundi emingi (19) mu byafaayo by’empaka zino ng’omulundi guno bagenze beewera obusungu bw’okulemererwa okuwangula liigi ya wano eya (National Netball Super League) kubumalira ku ttiimu ezigenda okwetaba mu mpaka zino.
Joselyn Uchanda maneja wa NIC ng’asinziira ku Offiisi za ttiimu e Nakasero yategeezezza nga ttiimu bagitaddemu ssente ezisukka mu bukadde 100 nga kino bakikoze okubasanyusa, bazannye nga tebalina kye bajula kibasobozese okuwangula ekikopo kino.
NIC ebadde yaakaviibwako omuteebi waabwe kayingo Stella Oyella azze abayamba okuwangula ebikopo eby’enjawulo wabula ono yeegasse ku Strathclyde Sirens Netball Club eya Scotland mu Bungereza, nga kati NIC yamusikisizza Zam Sera ne Cinderella Charity Anena (abadde mu Busia Greater Lions).
Margaret Baagala kapiteeni wa NIC yakakasizza nga bwe batagenda kunnyooma ttiimu yonna mu mpaka zino kuba ennono yaabwe ya buli sizoni okuwangulayo waakiri ekikopo era kati kino kye batunuulidde ate mumalirivu nti bajja kukiwangula.
“NIC yazimbibwa ku musingi gwa buwanguzi, embeera z’okumalako sizoni nga twanjala ngalo tetwagimanyiira y’ensonga lwaki ekya ‘East Africa’ tukyagala bubi nnyo kuba liigi y’eggwanga yatuyise mu myagaanya gya ngalo,” Baagala bwe yategeezezza.
Ttiimu 10 ze zeetabye mu mpaka zino okuli; NIC, Kenya Prisons, Nyika Queens, Tamisemi, Green Buffalos, Uganda Prisons, JKT, Ulinzi, KIU ne Makindye Weeyonje.
Mu basajja eriyo; Kenya Prisons, Kampala University, WOB ne Arusha Jiji be beetabyemu
No Comment