Pirates ewangudde empaka za Liigi ya Rugby

Kiraabu ya Kobs ekikopo kya liigi ya Nile Special kigiyise mu ngalo aba Pirates bwe bagikubidde ku butaka ku bugoba 23-07.Liigi egimazeeko n’obubonero 79 nga Heathens ekutte kyakuburi ku bunonero 77 ate Kobs n’edda mu kyokusatu bw’esigadde ku bunonero 75.Oluzannya luno Kobs ne Piarates balutandise beenkanya obubonero 75-75 wabula Kobs n’eregeya ekusukkiridde n’ennyia abazannyi baayo emitima nga Pirates egitandikiddewo okugikozesa ebisobyo ekitundu ekisooka ne kiggwako nga bagimulembedde ku bugoba 9-0 nga bwonna buvudde mu peneti.

Pirates ewangudde empaka za Liigi ya Rugby
By Silvano Kibuuka
Journalists @New Vision

Rams 03 – 55 Heathens

Kobs 07 – 23 Pirates

Kiraabu ya Kobs ekikopo kya liigi ya Nile Special kigiyise mu ngalo aba Pirates bwe bagikubidde ku butaka ku bugoba 23-07.

Liigi egimazeeko n’obubonero 79 nga Heathens ekutte kyakuburi ku bunonero 77 ate Kobs n’edda mu kyokusatu bw’esigadde ku bunonero 75.

Oluzannya luno Kobs ne Piarates balutandise beenkanya obubonero 75-75 wabula Kobs n’eregeya ekusukkiridde n’ennyia abazannyi baayo emitima nga Pirates egitandikiddewo okugikozesa ebisobyo ekitundu ekisooka ne kiggwako nga bagimulembedde ku bugoba 9-0 nga bwonna buvudde mu peneti.

Rugby 3

Rugby 3

Mu kitundu ekyokubiri Pirates eyongeddemu jjiya n’eteeba emipiira ebiri ku layini ne guggwa nga bali ku 23-07.

Buno buteebeddwa abazannyi Timothy Odongo ne Desire Ayera.

Wabula ng’ebula eddakiika ttaano, musaayimuto Karim Arinawe ateebedde Kobs n’efuna obugoba musanvu.

Obuwanguzi buwadde Pirates ekikopo kya liigi ekyokuburi bukya ebaawo ng’ekyasooka baakuwangula mu sizoni ya 2017/18.

Kapiteeni wa Pirates Isaac Massa ategeezezza nti bazze n’enjala y’okutwala ekikopo kya babadde babolerera okumala ebbanga.

Rugby 8

Rugby 8

“Tuzze tumaliridde okuwagula. Obuvumu tubufunidde mu kuwangula mipiira gyaffe gyonna mu luzannya olwokubiri mu liigi. Kobs yatukubira ewaffe mu luzannya olusooka era tubadde tubakolerera,” Massa bw’ategeezezza.

Ye owa Kobs, Emmanuel Echodu ategeezezza nti bakkirizza nga Piretes ebasinzizza amaanyi.

Omupiira guno gubaliddwa n’Omulangira David Wassajja nga ye kalabaalaba w’ekibiina kya Uganda Rugby Union era nga yeetabye mu kukwasa abawanguzi ekikopo n’okubambaza emidaali