Abeenjovu bawonye amazzi g'akaveera

May 23, 2023

Enjovu eggulawo ne Nkula ku Lwokubiri mu mpaka z'ebika by'Abaganda e Wankulukuku wabula tebalina bayamba ku ttiimu kuyimirirawo.

NewVision Reporter
@NewVision

TTIIMU y’ekika ky’Enjovu baagiyiyeemu bookisi z’amazzi 5 bwe babadde batandika okutendekebwa ku kisaawe kya Villa Park e Nsambya nga beetegekera empaka z’Ebika by’Abaganda.

 

Abaddukanya ttiimu eno nga bakulembeddwamu maneja Yusuf Ssembajja agambye nti, “Tulina abazannyi abalungi nga tusuubira okukola obulungi omwaka guno wabula tubulamu obuvujirizi.”

 

Jamada Ssessanga ne Ashraf Ssemambo baddukiridde ttiimu eno nga Ssessanga yawaddeyo bookisi z’amazzi 3 ate Ssemambo (2). Enjovu ezannya ne Nkula wiiki ejja ku Lwokubiri.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});