Ttiimu z'Ebika ez'okubaka zibangudde mu mateeka g'empaka
Jun 05, 2023
Mu ngeri y’emu omuwandiisi w’akakiiko kano Gerald Katamba yabasabye okwewala okukozesa abacuba kuba y’engeri yokka gye bagenda okusobola okutwala Ebika byabwe mu maaso n’okulaakulanya ebitone by’omuzannyi w’enkya nga wa kika ekyo.

NewVision Reporter
@NewVision
ABADDUKANYA ttiimu z’Ebika by’Abaganda ez’okubaka babanguddwa ku mateeka agafuga omuzannyo guno nga beetegekera emipiira gy’omwaka guno.
Omusomo guno gwabadde ku Bulange e Mmengo, akakiiko akaddukanya emipiira gy’Ebika by’Abaganda aka Bika Football and Netball Committee (BIFONEC) bwe kaabadde kakwata obululu bw’emipiira gino nga muno mwe baasomeserezza abakungu, abatendesi ssaako bakapiteeni abeetabye ku mukolo guno.
Katamba (ku kkono) ne Kaala.
Ow’ebyekikugu mu kakiiko kano Rosette Kaala agamba nti, “Tugenda kuba tuwa abaddukanya ttiimu z’Ebika ez’okubaka amateeka amapya agaawukana ku makadde gabadde gataputwa bubi.”
Mu ngeri y’emu omuwandiisi w’akakiiko kano Gerald Katamba yabasabye okwewala okukozesa abacuba kuba y’engeri yokka gye bagenda okusobola okutwala Ebika byabwe mu maaso n’okulaakulanya ebitone by’omuzannyi w’enkya nga wa kika ekyo.
Empaka zino zaakutandika June 17 ku kisaawe kya yunivasite ya St. Lawrence University e Lubaga ku Kayanja ka Kabaka. Ebika 30 bye byateereddwa mu bibinja mukaaga. Engeye ye yawangula engabo y’omulundi oguwedde oluvannyuma lw’okukuba Emmamba Gabunga.
No Comment