Ten Hag ayagala kuwa Greenwood mukisa
May 30, 2023
Greenwood, 21, yalina emisango gy’okukabasannya omuwala mu February ekyaleetera ManU okumuwummuza okutuusa nga giwedde. Wabula wdde gyamugibwako, kiraabu yasigala ekyamuwummuza nga bagamba bakyalina okunoonyereza kwebakola nga kiraabu.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUTENDESI wa ManU, Erik ten Hag agambye nti mwetegefu okuwa Mason Greenwood omukisa okudda ku ttiimu wabula ng’alinze bakama be bamuwe olukusa.
Ten Hag yategeezezza nti, “Mu kiseera kino nga ManU ebadde esiitaana okuteeba ggoolo eziwera, weetaaga omuzannyi nga Greenwood kuba yalaga nti ggoolo asobola okuziteeba mu kiseera we yabeererawo.”
Greenwood, 21, yalina emisango gy’okukabasannya omuwala mu February ekyaleetera ManU okumuwummuza okutuusa nga giwedde. Wabula wdde gyamugibwako, kiraabu yasigala ekyamuwummuza nga bagamba bakyalina okunoonyereza kwebakola nga kiraabu.
Omungereza ono, yateeba ggoolo 36 mu mipiira 130 gy’azannyidde ManU. Mu February, yasisiinkana abakungu ba kiraabu ku by’okumuwummuza.
Greenwood, yagamba banne nti ayinza obutaddamu kuzannyira ManU. Juventus yalanga nti eyagala kumukansa ku looni. Greenwood yateeka omukono ku ndagaano empya ya myaka 4 mu February wa 2021, mw’afunira pawundi 75,000 buli wiiki. Yasemba okuzannyira ManU nga bakuba West Ham (1-0) mu January wa 2022.
No Comment