Wasswa Bbosa amezze Mbabazi ne Mbowa ku gwa Mbarara City
Jul 04, 2023
Bbosa yabadde mu Gaddafi FC sizoni ewedde nga mu Mbarara City yatadde omukono ku ndagaano yam waka gumu.

NewVision Reporter
@NewVision
WASSWA Bbosa ayongedde okulaga bw’ali omukugu mu kutabaala mu ttiimu bwe yeegasse ku Mbarara City eyaakesogga liigi ya babinywera eya StarTimes Uganda Premier League.
Bbosa yabadde mu Gaddafi FC sizoni ewedde nga mu Mbarara City yatadde omukono ku ndagaano yam waka gumu. Ensonda zaategeezezza nti Bbosa yamezze Livingstone Mbabazi ne Baker Mbowa nabo ababadde baasaba omulimu gwe gumu.
Bbosa yasikidde Sadiq Ssempigi eyasuulawo ttawulo nga yaakasuumuusa ttiimu eno okuva mu Big League sizoni ewedde.
Bbosa y’omu ku batendesi abalina obumanyirivu mu liigi eno oluvannyuma lw’okuyamba Express okusitukira mu kikopo kya sizoni ya 2021 ne CECAFA Kagame Cup 2022.
Omulimu ogumuweereddwa mu Mbarara City gwa kugiyamba okusigala mu liigi ssaako olw’obumanyirivu bw’alina.
Asuubirwa okwongera mu ttiimu ye abazannyi basatu oba bana okwongera okugiggumiza. Bbosa atendese ku Express FC, Tooro United, Gaddafi FC, SC Villa n’endala.
No Comment