She Cranes etuuyanyizza New Zealand Vitality Netball World Cup 2023

SHE Cranes ttiimu y’eggwanga ey’okubaka eyongedde bannayuganda essuubi ly’okuvuganya obulungi mu World Cup y’omwaka guno eyindira mu Cape Town – South Africa, bw’etuuyanyizza New Zealand okubulwa okugiggyako wiini.

Mary Nuba ng'abuuka okufuna omupiira
By Gerald Kikulwe
Journalists @New Vision
#Trinidad and Tobago

Vitality Netball World Cup 2023

Uganda 79-37 Singapore

New Zealand 54-44 Uganda

Enkya Ssande

Trinidad and Tobago – Uganda (11:00)

SHE Cranes ttiimu y’eggwanga ey’okubaka eyongedde bannayuganda essuubi ly’okuvuganya obulungi mu World Cup y’omwaka guno eyindira mu Cape Town – South Africa, bw’etuuyanyizza New Zealand okubulwa okugiggyako wiini.

New Zealand be balina ekikopo kya World Cup kye baawangula mu 2019 nga bakuba Australia (52-51), banno bazze mu nsiike ya Uganda nga banoonya kukakasa ensi nti basobola okweddiza empaka z’omwaka guno.

Uganda yakubiddwa 54-44 ng’eno ye wiini New Zealand gy’esoose okufuna ku Uganda n’enjawulo eya ggoolo entono 10 zokka bukya ttiimu zombi zitandika kwesisinkana mu mpaka z’ensi yonna emabega.

Ensiike ebbiri ezibadde zikyasembyeyo, New Zealand Yakuba Uganda (53-40) y’enjawulo ya ggoolo (13) mu mizannyo gya Commonwealth 2022 ate bwe beesanga mu FAST5 2022 ezibadde mu Christchurch Arena ekya New Zealand, Uganda yakubiddwa (49-32) y’enjawulo ya ggoolo (17).

Omulundi guno New Zealand okuwangula Uganda n’enjawulo ya ggoolo 10 zokka kabonero akalaga nti ssinga omutendesi ayongera okuwawula abazannyi bano ne bakendeeza ku nsobi, ttiimu enene okuli; Australia, Bungereza ne South Africa abategesi, Uganda esobola okubaako gw’eggyako wiini ate n’okumalira mu bifo ebisava.

Omuteebi wa Uganda Mary Nuba Cholhok yalabise bulungi nnyo mu muzannyo guno ng’afutiza abazibizi ba New Zealand Kelly Jury ne Phoenix Karaka engeri obwedda gy’abanoga emipiira ku mitwe.

Wabula omutendesi wa Uganda Fred Mugerwa Tabale yaluddewo okuggyayo omuyambi wa Nuba mu kunoonya ggoolo Irene Eyaru, eyabadde n’omutindo ogw’ekiboggwe, yagenze okumusikiza Shadia Nassanga Sseggujja ku kitundu ekyokubiri nga kikeerezi.

Uganda bagguddewo World Cup y’omwaka guno na wiini bwe baakubye Singapore (79-37). Enkya (July 30, 2023) lwe baggalawo egy’ekibinja D mwe bavuganyiza nga battunka ne Trinidad and Tobago ate New Zealand ejja kufundikira ne Singapore.

Ttiimu ssatu ezinaasinga okukung’aanya obubonero obungi mu kibinja kino zaakweyongerayo ku mutendera oguddako gye bajja okusinkana endala ssatu okuva mu kibinja C okunoonyaako ezeeyongerayo ku ‘quarter’, semi ne fayinolo.

Ssinga Uganda eyitawo yaakusisinkana ttiimu endala ssatu ezinaakulembera ekibinja C okuli; Jamaica, South Africa, Wales ne Sri Lanka.