Leero mu Vitality Netball World Cup
Zimbabwe – Barbados
Australia – Scotland
Fiji – Malawi
Wales – New Zealand
Sri Lanka – Singapore
Jamaica – Uganda
Tonga – Bungereza
South Africa – Trinidad and Tobago
OMUTENDESI wa She Cranes ttiimu y’eggwanga ey’okubaka asabye abazannyi be obuteemulugunya ku baddiifiri bafuuwa amancoolo mu mpaka za World Cup wabula essira balisse ku kuzannya. Fred Mugerwa agambye nti abazannyi be nti balina kusigala nga bakola ogwabwe ebirala babirekere Katonda.
Bano leero Mmande (ku ssaawa 11:00), bakomyewo mu nsiike nga battunka ne Jamaica ku mutendera gwa ttiimu 16 nga balwanira ‘quarter’.
She Cranes yamazeeko kibinja D nga yaakubiri ku bubonero 4 bwe baawangudde Singapore (79-37) ne Trinidad and Tobago (74-34) wadde baakubiddwaamu New Zealand (54-44).
Stella Nanfuka (GK) ne Christine Nakitto (GD) nga bazibira aba New Zealand
Omutendesi okwongera ku baddiifiri kyaddiridde mu ensiike ya Uganda ng’ekubwa New Zealand ku wiikendi, baddiifiri bwe baagabye gya Uganda esatu mu kitundu ekyokusatu (nga Uganda y’erina okutandika) ne kiwa omulabe ekyanya okuwangula.
Guno gwabadde mulundi Uganda gw’esinze okuteekawo okuvuganya okw’amaanyi eri New Zealand, oluvannyuma lw’ensisinkano ze bazze bakwatagana. Ensiike ebbiri ezibadde zikyasembyeyo, New Zealand, yakuba Uganda (53-40) y’enjawulo ya ggoolo (13) mu mizannyo gya Commonwealth mu 2022 ate mu FAST5 2022 ezibadde mu Christchurch Arena ekya New Zealand, Uganda yakubiddwa (49-32) y’enjawulo ya ggoolo (17).
Mugerwa agamba nti Abazungu tebaagala kulaba ttiimu za Afrika nga zibasinga naye abazannyi abaakuutidde obutava ku mulamwa olw’ensobi eng’enderere ezikolebwa baddiifiri wabula basigale nga bassaawo okuvuganya okutuusa ku ffirimbi esembayo.
“Twava e Uganda ng’abawagizi bagamba nti ttiimu njabayaba mu World Cup naye eno ttiimu egenda kubeewuunyisa. Buli nsiike ng’enda kugikwata nga bw’ezze okutuusa Mukama w’anaatukomya,” Mugerwa bwe yategeezezza.
Guno mulundi gwakusatu nga Uganda yeetaba mu World Cup y’okubaka oluvannyuma lwa 1979, 2015 ne 2019. Sizoni ewedde gye bakyasinze okukola obulungi bwe baamalira mu kifo kyomusanvu.