Aba Wheelchair Basketball baleese kooki Munnakenya ababangule mu bukodyo

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa Basketball w’abaliko obulemu ekya Uganda Wheelchair Basketball Federation (UWBF) kireese Munnakenya, Edward Kihumba okubangula ttiimu egenda mu mizannyo gya Africa egy’abaliko obulemu egigenda okubeera mu ggwanga lya Ghana omwezi ogujja.

Aba Wheelchair Basketball baleese kooki Munnakenya ababangule mu bukodyo
By Silvano Kibuuka
Journalists @New Vision

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa Basketball w’abaliko obulemu ekya Uganda Wheelchair Basketball Federation (UWBF) kireese Munnakenya, Edward Kihumba okubangula ttiimu egenda mu mizannyo gya Africa egy’abaliko obulemu egigenda okubeera mu ggwanga lya Ghana omwezi ogujja.

Kihumba aleese obukugu bunene kubanga y’akulira okutendeka omuzannyo guno mu kibiina kya Eastern Africa Wheenchair Basketball ekirimu amawanga 12 era nga y’akulira n’ekya Kenya ekikola omulimu gwe gumu.

Ono yasooka okubangula ttiimu ya Uganda bwe yali mu mpaka z’obuvanjuba bwa Africa e Tanzania mu December omwaka oguwedde Uganda gye batwala ttimu bbiri ey’abasajja n’eyabakazi.

Ey’abasajja yakwata kyakubiri okuddirira Kenya n’eyitamu okukiika mu mpaka za Africa nga Kenya yakwata kisooka so nga ey’abakazi yakwata kyakusatu n’etayitamu.

“Omutindo gw’abazannyi gulinnya okusinga we babatandikirako e Tanzania. Eyo nabatendekera ennaku ssatu zokka wabula nga kati tumaze emyezi ebiri mu nkambi n’olwekyo mbasuubira okukola obulingi e Ghana,” omutendesi Kihumba bw’ategeezezza.

Batendekebwa enkya n’eggulo mu Lugogo Indoor arena neku kisaawe kya Hockey.

NCS y’etadde ensimbi mu kutendekebwa kuno awamu n’okutambuza ttiimu.

Kihumba ayambibwako Joseph Chowaconga owa Uganda.