Mugenda mulwane muwangule emidaali - Canon Mugumya

Canon Mugumya bwe yagambye abayizi eggulo ng’abasiibula e Lugogo. Mugumya yabadde ne ssaabawandiisi wa NCS, Benard Ogwel ssaako akulira ekibiina ekitwala emizannyo gy’amasomero ga siniya ekya Uganda Secondary Schools’ Sports Association (USSSA), Justus Mugisha.

Ttiimu ya Kakungulu Memorial eyakiikiridde Uganda mu hockey w'abawala.
By Charles Lwanga
Journalists @New Vision
#NCS #Federation of East Africa Secondary Schools Sports #Benard Ogwel #St. Marys’ College Kitende

KAMINSONA w’emizannyo mu minisitule y’Ebyenjigiriza n’Ebyemizannyo, Canon Duncans Mugumya akalaatidde amasomero agakiikiridde Uganda mu mizannyo gy’obuvanjuba bwa Afrika egya Federation of East Africa Secondary Schools Sports (FEASSSA) okulwana masajja bakuumire bendera y’eggwanga waggulu.

Yabadde asiibula amasomero 13 agaakiikiridde Uganda mu mpaka zino ezitandika leero mu kibuga Huye e Rwanda. “Nnina essuubi nti mwenna abagenda okwetaba mu mizannyo gino mulina obusobozi okukomawo n’ekikopo oba emidaali. Njagala mukomewo na buwanguzi nga bwe mwakola omwaka oguwedde,”

Canon Mugumya bwe yagambye abayizi eggulo ng’abasiibula e Lugogo. Mugumya yabadde ne ssaabawandiisi wa NCS, Benard Ogwel ssaako akulira ekibiina ekitwala emizannyo gy’amasomero ga siniya ekya Uganda Secondary Schools’ Sports Association (USSSA), Justus Mugisha.

Canon Duncans Mugumya

Canon Duncans Mugumya

Uganda ye yawangula ekikopo ky’omwaka oguwedde mu mizannyo gino kyokka mu gy’omwaka guno eyolekedde olusozi gambalagala olw’amasomero okuva e Tanzania, South Sudan, Kenya n’amalala ageetegese okugikisuuza.

Uganda yawangula emidaali gya zaabu 18 feeza 10 n’egy’ekikomo 13 nga ku luno erina okulwana eyongereko. Amasomero okuli; Buddo SS (basketball mu balenzi n’abawala), Kawempe Muslim (mupiira gw’abawala), Namiryango College (rugby), Kakungulu Memorial (hockey balenzi n’abawala ssaako badminton).

Amalala kuliko; St. Henry’s College Kitovu, St. Marys’ College Kitende, Kibuli SS ne Amus College (mupiira) n’amalala.