EMPAKA eziwakanirwa abasawo okuva mu malwaliro agenjawulo zituuse we zinyumira olw'essanyu n'okuvuganya okuzeeyongeddemu.
Kino kiddiridde buli ttiimu okugyayo amaanyi n'obukodyo obwenjawulo okuberako ebirabo ebyenjawulo omuli; ebikopo,emiddaali ne ssente bye ziwangula mu mpaka zino ezibuzaayo lawundi (outings) bbiri zokka okukomekerezebwa omwaka guno.
"Okuvuganya kweyongedde era buli ttiimu ezannyisa maanyi n'akakodyo k'okufiirawo okusobola okufuna obuwanguzi mu mizannyo egyenjawulo omuli;omupiira gw'ebigere,okubaka ne Volley";bwatyo omutendesi wa Kampala Hospital,Charles Masaba, bwe yategeezeza nga bakamala okukubwa Platinum Hospital mu gumu ku mipiira egyanyumidde abalabi olw'enzannya y'okufiirawo buli ludda lwe zaayoleseza.

Empaka z'abasawo
Yawagiddwa abazannyi ba Kibuli abalaze essanyu olw'okufuna obuwanguzi ku Kampala Hospital(emu ku zibadde zivuganya ku kikopo) mu mupiira ogwaabaddemu okuvuganya n'ebbugumu eritagambika.Era abawagizi babwe balabidwaako nga babibyaamu wakati mu ssanyu.
Mu mipiira emirala, Kisubi Hospital yakoze amaliri ga 0-0 ne Rocket Health, ate Mengo Hospital neekuba "Uganda Cancer Institute" ggoolo 2-0 Nsambya neekola ekintu kye kimu ku Jena Herbals(2-0),olwo Orthopedics -Mulago neekuba Gary Holmes 1-0.
Empaka zino zizannyibwa buli wiiki Eyookusattu esembayo mu mwezi era nga zetababwaamu n'emizannyo emirala okuli;Volley Ball n'okubaka