Ttiimu y'essaza lya Bulemeezi bagisuubizza ettu
Oct 05, 2023
Bulemeezi yaakudding’ana ne Mawokota ku semi z’empaka zino ku Mmande ng’ogwasooka baalemaganye (1-1) ku kisaawe e Buwama.

NewVision Reporter
@NewVision
Omugagga Frank Mutalaga asabye abazannyi ba ttiimu y’essaza lya Bulemeezi obutakkiriza bakungu ba ttiimu ezimu kubawa nguzi wabula balwane bawangulire ttiimu yaabwe ekikopo ky’Amasaza ga Buganda omwaka guno.
Mutalaga, omu ku basinze okuvujjirira ttiimu y’essaza lya Bulemeezi sizoni eno, agamba nti amasaza agamu galina omuze ogw’okusonseka abazannyi ba ttiimu ezimu ‘obwama’ ne babaggya ku mulamwa. Yagambye abazannyi nti bwe baba balina obuzibu bwonna bamutuukirire akibamalire kuba ye ayagala kimu, kuwangula kikopo ky’amasaza sizoni eno.
Bulemeezi yaakudding’ana ne Mawokota ku semi z’empaka zino ku Mmande ng’ogwasooka baalemaganye (1-1) ku kisaawe e Buwama.
Kapiteeni wa Bulemeezi nga yeeyama eri bakama be okukuba Mawokota.
Oluvannyuma lw’omupiira gw’oluzannya olwasoose ku semi, ttiimu ya Bulemeezi yazzeemu okusisinkana Mutalaga e Mpanga Kiwoko mu Luweero n’asuubiza okubongeza ensako singa bawandulamu Mawokota ne beesogga fayinolo. Bulemeezi erwana kuwangula kikopo ky’Amasaza ekyokusatu ekigatte ku kya 2012 ne 2019 bye yasooka okuwangula.
Wano kapiteeni waabwe, Peter Ssenkungu we yasinzidde n’ankunga abawagizi bonna okujja mu bungi ku kisaawe e Kasana okubawagira basobole okuggyamu Mawokota.
Ye ssentebe wa ttiimu y’essaza lya Bulemeezi, Taddeo Wasswa yeebazizza omugagga Mutalaga okubaggya gye baali batubidde era n’asaba Bannabulemeezi okujja mu bungi ku Mmande basobole okuggyamu Mawokota.
No Comment