Abazannyi ba Buleemezi bakyaddeko ku ntaana ya nnyina w'omugagga abateekamu ssente okufuna emikisa egiwangula ekikopo

Sep 22, 2023

Omugagga Frank Mutalaga ayongedde ebbugumu mu ttiimu ya Bulemeezi bw'okubateekamu omusimbi gwonna gwe beetaaga singa banaawangula Buweekula ku Ssande.

NewVision Reporter
@NewVision

Omugagga Frank Mutalaga ayongedde ebbugumu mu ttiimu ya Bulemeezi bw'okubateekamu omusimbi gwonna gwe beetaaga singa banaawangula Buweekula ku Ssande.

Bino Mutalaga yabyogeredde ku maka ge agasangibwa e Mpanga Kiwoko mu Luweero abazanyi ba ttiimu ya Bulemeezi bwe bamukyalideko ku Lwokuna.

Nga bakulembeddwamu akulira abazannyi (Captain) Peter Ssenkungu yagambye nti nga bbo abaganda bakimanyi nti emikisa gisookera mu bajjajja kye bavudde basalawo okujja okusaba ku mugenzi Margret Mutalaga omukisa nga ono yazaala omugagga Frank Mutalaga bawangule omupiira gw'oku Ssande nga bakyalidde  Buweekula. 

Abazannyi nga balya emmere

Abazannyi nga balya emmere

Omuggagga Mutalaga wano waasinzidde n'abasuubiza okubateekamu ssente mu buli kye beetaaga okulaba nga baleetera ttimu ya Bulemeezi ekikopo, okuli okubasasulira we banaasula, okubaliisa , okubawa omusaala , entambula ne ssente ez'okubabeezaawo n'ebirala.

"Engeri gye kiri nti mupiira gwa masaza ga Buganda munaabe ne ku bbombo n'olwezza muleete obuwanguuzi," bw'atyo Mutalaga bwe yategeezezza.

Ye eyali mmeeya wa Ngooma Town Council nga kati ye ssentebe wa Bulemeezi FC Masaza cup Tadeo Wasswa yeebazizza omugagga Mutalaga okuloowoza ku ttiimu y'omu kitundu kye era n'asaba abazannyi ku mulundi guno okuggyayo n'ag'omu buto bawangulire Bulemeezi ekikopo.

Entaana y'omugenzi Margret Mutalaga, Maama w'omugagga Mutalaga

Entaana y'omugenzi Margret Mutalaga, Maama w'omugagga Mutalaga

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});