Abadde omutendesi wa Ndejje University eyafudde bagenda kumukungubagira wiiki nnamba

Oct 27, 2023

OMUPIIRA wakati wa Ndejje ne Kyambogo mu liigi ya yunivasite (Pepsi University Football League) ogubadde ogw’okuzannyibwa leero Lwakutaano (October 27, 2023) gusaziddwaamu ne gwongezebwayo okutuusa olunaku olutanategeerekeka. 

NewVision Reporter
@NewVision

Pepsi University Football League

Eggulo (Lwakuna)

YMCA 2-0 IUIU

Leero (October 27, 2023)

Ndejje – Kyambogo, Ndejje

Enkya (October 28, 2023)

Muni – Makerere, Arua

OMUPIIRA wakati wa Ndejje ne Kyambogo mu liigi ya yunivasite (Pepsi University Football League) ogubadde ogw’okuzannyibwa leero Lwakutaano (October 27, 2023) gusaziddwaamu ne gwongezebwayo okutuusa olunaku olutanategeerekeka.

Kiddiridde okufa kw’abadde omutendesi wa Ndejje University FC eya Big League Raymond Komakech eyasizza omukka ogw’enkomerero mu ddwaliro e Kiruddu.

Okusinziira ku Ivan Drake Karimunda akulira eby’emizannyo ku yunivasite y’e Ndejje agamba nti Komakech abadde amaze emyaka esatu ng’atawaanyizibwa obulwadde bw’ensigo okutuusa ku Lwokusatu akawungeezi bwe yavudde mu bulamu bw’ensi eno.

“Abasawo baamulongoosa gye buvuddeko era buli wiiki abadde addayo e Kiruddu okumukebera n’okufuna obujjanjabi wabula ku Lwokubiri yagenze mu ddwaliro nga bulijjo, ne bamukolako kyokka bwe yazzeeyo awaka ate n’abeera bubi ng’asesema musaayi, okumukomyawo mu e Kiruddu ne bamuteeka ku byuma ebiyambako okussa kyokka enkeera Lwakusatu akawungeezi n’afa,” Karimunda bwe yannyonnyodde.

Karimunda annyonnyola nti Komakech yeegatta ku Ndejje mu 2008 ng’omuyizi wa ddiguli mu kkompyuta ne tekinologiya ate nga yali muzannyi wa Handball era bwe yagimala mu 2011, yunivasite n’emusigaza kwe kutandika okutendeka emizannyo okuli Handball n’omupiira.

“Enkya Lwamukaaga, omulambo gwakuleetebwa ku yunivasite abayizi bamukubeko eriiso evvannyuma n’okusabira omwoyo gw’omugenzi, oluvannyuma waakutwalibwa mu disitulikiti y’e Gulu gy’ajja okuziikibwa ku Lwomukaaga lwa wiiki ejja (November 4, 2023),” Karimunda bwe yatangaazizza.

UFL emukungubagidde

Okusinziira ku Ssentebe w’akakiiko akaddukanya liigi ya yunivasite omuli ne ttiimu ya Ndejje, Vincent Kisenyi yakakasizza ng’omupiira ogw’okudding’ana Ndejje gw’ebadde erina okukyaza Kyambogo leero Lwakutaano e Luweero gwongezeddwaayo okutuusa olunaku olulala olunaalangirirwa gye bujja.

Omupiira ogwasooka ttiimu zombi zaagwa maliri (1-1) nga kati buli emu ebadde enoonya wiini ku ginnaayo okutangaaza emikisa gy’okuva mu kibinja C okweyongerayo ku ‘quarter’.

Muni – Makerere, Arua

Enkya Lwamukaaga (October 28, 2023) Makerere University ekyalira Muni mu gw’okudding’ana mu kibinja C. Makerere yawangula ensiike eyasooka (2-0) kati Muni eyagala kugyesasuliza mu Arua ate ne Makerere yeetaaga wiini okuteekayo ekigere ekisooka ku ‘quarter’.

Makerere y’ekulembedde ekibinja kino n’obubonero 9, Kyambogo erina (4) mu kyokubiri, Ndejje University bubiri mu kyokusatu ne Muni terinaayo kabonero

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});