Mossad;Misoni 10 enkambwe ze bazze bakola

Oct 19, 2023

MOSSAD kitongole kya bambega ekyogerwako ng’ekisinga okuba eky’omutawaana mu by’ekikessi mu nsi yonna.

NewVision Reporter
@NewVision

MOSSAD kitongole kya bambega ekyogerwako ng’ekisinga okuba eky’omutawaana mu by’ekikessi mu nsi yonna.
Newankubadde waliwo ebizze byogerwa nti obulumbaganyi aba Hamas bwe baakoze ku Yisirayiri nga October 7, 2023 kyalaze ebituli mu kitongole kino, naye ebyafaayo biraga nti be bakyasinze okukola misoni ez’omutawaana.
Tukuleetedde misoni 10 bakomando ba Mossad ze bazze bakola ne baleka ensi ng’eyanaamiridde.
Okuva lwe kyatondebwawo mu 1949, ekibinja kya Mossad kizze kikola misoni ez’enjawulo okutaasa Yisirayiri ku balabe baayo abagyetoolodde. 1. Misoni ya Operation Finale:
Omuyiggo ku Adolf Eichmann, omu ku basajja abaasinga okutirimbula Abayudaaya n’akatagga nga ne bwe bawulira erinnya lye kati bagugumuka, ssematalo owookubiri olwaggwa yaddukira mu Argentina.
Aba Mossad olwakimanya nti Eichmann yali yeekukumye Argentina nga yakyusa n’amannya ne yeetuuma Ricardo Klement, baasindikayo mbega eyamukettera
emyezi esatu era ng’akakasizza nti gy’ali, baasindikayo bakomando 30 abaamukwata mu kiro kya May 11, 1960.
Bakomando bano abaayambala ng’abakozi b’oku nnyonyi ya Yisirayiri eyali etutteyo abakungu okwetaba mu ttabamiruka, Eichmann baamuteeka mu kifo ekyali ekizibu ennyo okuzuulibwa aboobuyinza mu Argentina, nga bamulekeddewo w’assiza wokka, yogaayoga nga bamutuusiza e Yisirayiri.
Baamusimba mu kkooti ne bamusingisa emisango era kkooti n’emusalira ogw’okuwanikibwa ku kalaba n’atugumbulwa. 2. Lwe baanunula Abayudaaya e Morocco (1961-1964): Morocco bwe yafuna obwetwaze okuva ku Bufalansa mu 1956, aboobuyinza baalangirira Abayudaaya bonna abaaliyo baali baweereddwa obutuuze e Morocco wabula nga tebakkirizibwa kufulumayo kugenda mu nsi ndala.
Abayudaaya baalaajana okukkirizibwa baddeyo e Yisirayiri naye Morocco yakomba ku erima.
Kyokka Mossad ng’ekozesa musajja David Littman, Omuyudaaya eyali abeera  Switzerland ng’akulira ekibiina ekirabirira abaana bwe yakola misoni eyatuumibwa
‘Operation Mural’ mwe yawuddiisiza Gavumenti nti yali atwala abaana okulambula Switzerland ne bamukkiriza okutwaliramu n’Abayudaaya.
Littman, Gavumenti ya Morocco we yamugwiramu ng’abaana Abayudaaya abasoba mu 530 bamaze okutuuka e Yisirayiri n’eyimiriza eby’okufulumya abaana. Gye byaggweera nga aba Mossad batongozza misoni eyookubiri eyatuumibwa Yachin mwe baanunulira
Abayisirayiri abasukka mu 100,000 wakati wa 1961 ne 1964. Bano baafuna engeri gye bakkakkanyaamu Morocco n’ekkiriza nga bagiwaddeyo akasente olw’okufulumya
abantu abawera okuva e Morocco.
3. Operation Damocles (1962): Misoni eno yali ku kuyimiriza kuzimba ebikompola, Pulezidenti wa Misiri, Gamal Abdel Nasser, kwe yali alangiridde mu 1962 nti nga
ziwedde zaalina obusobozi okukuba munda mu Yisirayiri.

 Aba Mossad bwe baakizuula nti Misiri yali ekozesa bannassaayansi b’e Germany okukola ebikompola bino, bassa Germany ku nninga eggyeyo basajja baayo era bwe yawalira ne bakola olukwe mwe battira eyali akulira amafuta ga Shell, Heinz Krug, ekyakanga Gavumenti ya West Germany n’eyitayo basajja baayo okuva e Misiri.
Mu kukkaanya aba Mossad baayambako n’okuggya bannassaayansi bano ku lukalala lw’obo abaalina okusibwa nga Ssematalo owookubiri awedde.
4. Misoni ya Eli Cohen (1962- 1965): Mu myaka gya 1960, Yisirayiri yali ku mbiranye ne muliraanwa, Syria naye nga tebalina mbega abafunira mawulire. Baafuna omusajja,
Eli Cohen, eyazaalibwa e Misiri nga nnyina Muyisirayiri ate nga kitaawe w’e Syria. Oluvannyuma lw’okumutendeka, ab’ekibinja kya Mossad baamusindika e Syria gye
yabayamba okubamanyisa ebyama bya Syria bingi omwali ne pulaani y’okukyusa entambula y’omugga Yolodani (Jordan River), gube nga tegukyayita Yisirayiri kyokka nga abaayo gwe basinga okufunako amazzi. Yisirayiri olwamanya kino yakola
olulumba olwa bbomu n’eyokya byonna Syria bye yali ekozesa ne baguvaako.
Cohen yalinnya amadaala mu Gavumenti ya Syria nga tebakimanyi nti ababega era  baamulowoozanakoku ky’okufuuka minisita omubeezi ow’ebyokwerinda, kyokka oluvannyuma baamugwamu ne bamukwata ne bamuwanika ku kalabba nga n’okutuusa kati gye yaziikibwa tebaayogerayo.
5. Mossad lwe yabba ennyonyi ennwaanyi (1966): Mu kiseera nga waliwo olutalo
lw’ebigambo olutaalimu mmundu Yisirayiri yali eyimiridde ne America ate ng’amawanga ga Buwalabu agasinga gateetera na Russia (USSR), eyagawa ebyokulwanyisa ebyomulembe omwali n’ennyonyi nga MIG-21, America gye yali eyaayaanira okumanya tekinologiya waayo.
AbaMoss- ad baalina okutetenkanya okulaba bwe bafuna emu ku nnyonyi zino, we baagwiira ku payirooti eyali omutuuze w’e Iraq naye nga muzaale w’e Yisirayiri, Munir Redfa.
Aba Mossad baamusuubiza ensi n’eggulu ssinga abba ennyonyi eno n’agituusa e Yisirayiri nga n’aba famire ye baali ba kubatwala e Yisirayiri bamusasulenga okutuusa lw’alifa.
Pulaani eno yatuukirira, bakomando ba Mossad bwe baakukusa aba famire ya Redfa, okuva e Baghdad nga babakyusizza amannya okutuusa lwe baabamutuusaako e Yisirayiri.
America yeekebejja ennyonyieno n’eggyako tekinologiya yenna Abarussia gwe baali bakozesezza ne bagiwa n’erinnya eppya n’ennamba ya “007”.
6. Banunula Abayudaaya abaali baggalirwa e Russia: Oluvannyuma lwa Russia (USSR) okugaana Abayudaaya abaaliyo okufuluma, aba Mossad baalina okutetenkanya bwe babakuuma nga bamanyi ebigenda mu maaso okwa boobwe n’okupanga enkwe
ez’okubazza e Yisirayiri. Ku mulundi guno, misoni ey’emirembe baagikola bayita mu
kampeyini ya Aliyah mwe bakkirizisa Russia okuleka Abayudaaya kudda ewaabwe.
7. Okwesasuza ku kittabayudaaya eky’e Munich:
Oluvannyuma lw’okutemula abazannyi ba Yisirayiri 11 abaali bagenze e Germany okwetaba mu mpaka za Olympics mu kibuga Munich mu 1972, Gavumenti ya Yisirayiri
yalagira aba Mossad okusaanyaawo bonna abaali beetambye mu kikolwa kino naddala ab’akabinja ka Black September. Aba Mossad baagenda batta abaduumizi n’abalina akakwate ku batujju bano mu kikwekweto kye baatuuma ‘Operation Wrath of God’. Kyokka ne akiyimiriza mu 1973 oluvannyuma lw’okutta mu butanwa omuvubuka
omu eyali akola mu wooteeri emu e Norway. Bano baddamu okukola mu 1979, lwe batta eyali omuduumizi w’ekibinja kino, Ali Hassan Salameh e Beirut mu Lebanono. 8. Bakola olulumba e Iraq ne bookya nukiriya wa Saddam: Oluvannyuma lwa Yisirayiri okukakasa nti eyali Pulezidenti wa Iraq Saddam Hussein yali yeekobaanye
ne Bufalansa okuzimba ekkolero lya nukiriya, aba Mossad baakola n’eggye lya Yisirayiri ery’omu bbanga ne bayungula ennyonyi ezaasuula bbomu ku bifo bya nukiriya e Iraq byonna ne bibengeya.
Nga wayise emyaka 26, Yisirayiri yalumba Syria n’esuula bbomu ku nfo we yali ekolera nukiriya.
9. Lwe baanunula Abayudaaya abaali mu Ethiopia (1984- 1985): MU 1984, Aba Mossad baasindikibwa mu Ethiopia okununula Abayudaaya Gavumenti be yali egaanyi okuvaayo wakati mu njala.
Bano kye baakola kwe kuyita ku nnyanja emmyuufu ne batandika okutolosanga abawera, ate abalala nga babatwalira mu nnyonyi ezaagwanga eyo wakati mu ddungu
ne babatwala eka.
Mossad ng’eyambibwako CIA (eya America) baatongoza ekikwekweto kye baatuuma Operation Moses, ne beeyambisa aboobuyinza  Sudan okutolosa Abayudaaya
abawera. Baanunula abasukka 800.
10.Okulwanyisa obutujju: Lwe batta ssaabatujju Imad Mugniyeh (2008) Imad Mugniyeh ye yali nnamba bbiri mu batujju abasinga okunoonyezebwa okuva ku Osama Bin Laden. Ono ye yali akulira akabinja k’abatujju ba Hezbollah, akasibuka e Lebanon ng’avunaanyizibwa ku butujju bungi obw’okukuba ekitebe kya America e Beirut mu 1983, okusuula bbomu ku nkambi y’amagye ga America e Beirut, okuwamba, okutta Abayudaaya mu kibuga kye kimu mu 1994 n’ebirala bingi.
Aba Mossad baakola misoni enkambwe ne bamutta mu 2008

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});