Bishop Stuart ekaliddwa emyaka ebiri nga tezannya mu liigi ya yunivasite
Oct 31, 2023
MAKERERE University Business School (MUBS) ekomyewo mu nsiike okulwanirira likodi y’obutakubwamu sizoni eno n’okwenywereza ku ntikko y’ekibinja B ky’ekulembedde n’obubonero 9 mu mipiira esatu gye yaakazannya.

NewVision Reporter
@NewVision
Pepsi University Football League
Eggulo
Kumi 2-2 Busitema
Leero Lwakubiri
MUBS – Victoria University, Nakawa
MAKERERE University Business School (MUBS) ekomyewo mu nsiike okulwanirira likodi y’obutakubwamu sizoni eno n’okwenywereza ku ntikko y’ekibinja B ky’ekulembedde n’obubonero 9 mu mipiira esatu gye yaakazannya.
Leero Lwakubiri ku kisaawe e Nakawa bakyazizza Victoria University etakyalina kigendererwa sizoni eno ng’ekoobedde n’akabonero kamu kokka mu mipiira esatu egiyise nga terinaayo wadde wiini.
Wiiki bbiri emabega MUBS yalumbye Victoria University e Kabojja n’egikuba ggoolo 3-1, kati leero badding’anye mu nsiike ya ttiimu zombi eggulawo ez’ekitundu ekyokubiri mu kibinja kino mwe bavuganyiza Islamic University in Uganda (IUIU) eri mu kyokubiri n’obubonero 6, YMCA (4) mu kyokusatu.
Omutendesi wa MUBS William Kasozi ttiimu agyongeddemu omuzibizi Savior Kinya abadde tazannyangako sizoni eno olw’embeera ya layisensi wabula agenda kusubwa nnyo Marvin Ategeka mu kisenge olw’obuvune bwe yafunidde mu kutendekebwa.
“Ekitundu kya sizoni ekisooka emipiira gyaffe egisinga gibadde ku bugenyi, guno gwe mupiira ogwokubiri awaka, era tetugenda kunyooma Victoria wadde twagiwangula ogwasooka, twagala kwongera ku bungi bwa ggoolo ttiimu z’eteeba era amaanyi ngatedde ku bateebi,” Kasozi bwe yannyonnyodde.
Omutendesi wa Victoria University Emmanuel Amagu asabye abazannyi obutaggwaamu maanyi wadde wiini ekyabuze mu mipiira gye baakazannya, n’abagumya nti ogwa leero basobolala okugufunamu obuwanguzi ku bugenyi e Nakawa.
Eggulo Kumi University yakyazizza Busitema mu nsiike ey’okudding’ana mu kibinja D ne bagwa maliri (2-2). Ekibinja kino kati kikulembeddwa Uganda Christian University (UCU) n’obubonero 9.
BISHOP STUART EKALIGIDDWA EMYAKA EBIRI
Mu ngeri y’emu Bishop Stuart University okuva e Mbarara yagobeddwa mu liigi ya yunivasite sizoni eno okumala emyaka ebiri nga tegyetabaamu lwa kuzannyisa bacuba okuli; Bless Mwije, Ashir Agaba, Brighton Nyesigye ne Frank Tumusiime mu mupiira bwe baawangula ISBAT (3-1) ku kisaawe kyabwe e Mbarara.
No Comment